Amawulire

Tonyooma bakulembeze ba bantu- Besigye

Ali Mivule

April 21st, 2014

No comments

Besigye i Masaka

Eyali ssenkagale w’ekibiina kya FDC  Dr Kiiza Besigye akolokose pulezidenti Museveni olw’ebigambo byeyayogedde ebirengezza ab’oludda oluvuganya gavumenti , ng’abanenya nti bebaviiriddeko ekibuga kampala obutakulakulana.

Besigye agamba ebigambo bino binyomoola abakulembeze abalondeebwa abantu, nga era ayagala palamenti etunule mu nsonga eno kubanga tekikirizika mukulembeze w’eggwanga okweyisa mungeri bwetyo.

Mu ngeri yeemu , Dr Besigye agambye nti yali nsobi ya maanyi amyuka loodi meeya w’ekibuga Kampala Sulaiman Kidandala okusisinkana ne ssenkulu wa poliisi Gen Kale Kayihura.

Besigye agamba nti ensisinkano eno yali erina okubeerawo misana ttuku nga era yali erina okubeera n’omulamwa.

Agamba bakusisinkanamu Kidandala olunaku olw’enkya okwongera okwogera ku  nsonga eno.