Amawulire
TTabamiruka wa NRM agende mu maaso- Kkooti
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nti ttabamiruka wa NRM ayimirizibwe
Okusaba kuno kwaali kwassibwaawo munna NRM Capt Daudi Maguru agamba nti ensonga ze ne pulezidenti Museveni zibadde tezikolwangako kale nga kikyaamu olutuula okugenda mu maaso.
Maguru agamba nti yategeragana ne pulezidenti Museveni nti tajja kuddamu kukwata bendera y’ekibiina kyokka nga kyamuggwaako okulaba ng’ate tayagala na Muntu yenna amuvuganye
Wabula omulamuzi Lydia Mugambe agambye nti Maguru talaze nti ssinga bayimiriza olutuula luno anaategeragana ne pulezidenti Museveni
Omulamuzi era agambye nti ensonga zino Maguru yandibadde yazikoonako dda okusinga okuzireeta nga ttabamiruka atuuse
Kati NRM esigazza okusaba kumu okwassiddwaayo ababaka Joseph Sewungu ne Brenda Nabukenya nga nabo bawakanya ttabamiruka wa NRM.
Bano bbo bagamba nti NRM yakozesezza ba RDC okutegeka ttabamiruka ono ate nga bakozi ba gavumenti n’ebeera ng’ebayingizza mu by’obufuzi.
NRM etegese ttabamiruka agenda okubaawo nga 15 okukola enongosereza mu ssemateeka w’ekibiina.