Amawulire
Ttiyagaasi e Luweero
Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala mu bawagizi b’ekibiina kya DP ababadde bagoberera omuntu waabwe Brenda Nabukenya ngava okuwandiisibwa.
Nabukenya abadde akulembeddemu abantu be nga bayita mu katale ka mubuulo poliisi ky’egambye nti kimenya mateeka
Akulira ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu yye agusalidde poliisi ky’alumiriza okukuba ttiyagaasi wekitetaagisa
Wabula omwogezi wa poliisi e luuyi eno,Lameck Kigozi agamba nti abawagizi ba Nabukenya babadde bazibye ekkubo nga tebayinza kubaleka