Amawulire
UBOS etandise kunteekateeka eyókugezesa okubala abantu
Bya Prossy Kisakye,
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kubala abantu ekya Uganda Bureau of Statistics-UBOS kitandise enteekateeka z’emirimu gy’okugezesa okubala abantu egigenda okukolebwa omwezi guno.
Ekitongole kino kyatandise n’omusomo gwa wiiki bbiri ogw’okumanyisa abagenda okukola omulimo guno engeri gyebalina okugutambuzaamu mu kwetegekera okubala abantu okweggwanga lyonna.
Bwabadde ayogerako n’abatendekebwa e Mukono, akulira ekitongole kya UBOS, Chris Mukiza, abasabye okufaayo ennyo basobole okutegeera ebibuuzo bye bagenda okukozesa nga bakola okugezesa okukulembera entekateeka eno.
Abalabirira bano basunsuddwa okuva mu disitulikiti 13 okuli Bungangabu, Kole, Namayingo, Nakasongola, Mbale Kotido n’endala.
Kino kijjidde mu kiseera nga Gavumenti yetegekera omulimu gw’okubala abantu mu ggwanga mu August ogugenda okuyamba mu nteekateeka.