Amawulire
Uganda efunye abalwadde ba COVID-19 abappya 105
Bya Ritah Kemigisa
Minisitule yebyobulamu ekakaksizza abalwadde ba ssenyiga omukambwe, abapya 105 nga guno gwemuwendo ogukyasinze okubeera waggulu okuva omuyaga ogwokubiri ogwa COVID-19 gulangirirwa.
Emiwendo gino gyavudde mu kubera okwakolebwa nga 13 nenkeera waalwo nga 14 May 2021.
Bano bavudde mu bitundu okuli disitulikiti ye Kampala, Oyam, Mbale, Mityana, Amuru nendala.
Ku bano abantu 94 bawereddwa ebitanda mu malwaliro agenjawulo.
Kati awamu, Uganda erina abalwadde emitwalo 4 mu 2,779, atenga abantu emitwalo 43 mu 301 bebakagemebwa.