Amawulire

Uganda erina obusobozi okulwanyisa Ebola-Abakugu bogedde

Uganda erina obusobozi okulwanyisa Ebola-Abakugu bogedde

Ivan Ssenabulya

September 22nd, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Abakugu mu by’obulamu balina bakkakafu nti ekirwadde kya Ebola ekyalumbye eggwanga tekijja kukosa bantu bangi ng’ekyasooka.

Okusinzira kwátwala ettendekero lya basawo ku university e Makerere, Prof. Damali Nakanjako okusinziira ku kunoonyereza okuliwo Uganda kati eri mu mbeera nnungi okukwata ekirwadde kino singa wabaawo enkola ez’okwetangira.

Alaga nti okumanyisa abantu nakyo kikulu nnyo mu kuziyiza obulwadde buno.

Nakanjako abadde ayogerako eri bannamawulire ku Uganda Media Center, nga beetegekera olukungaana olwomulundi ogwokusatu olwa Evidence to Action, olutegekeddwa ku yunivasite e Makerere olugenda okutandika nga 28th-30th omwezi guno.

Ku Lwokubiri, minisitule y’ebyobulamu yakakasizza ekirwadde kya Ebola mu ggwanga oluvannyuma lw’okuzuulibwa e Mubende, nga babiri bafudde ate abalala abawerako bateereddwa mu kalantiini.

Uganda yakalumbibwa obulwadde bwa Ebola enfunda nya omulundi ogwa sooka gwali mwaka gwa 2000, 2014, 2017 ne 2018 mpozi nobulumye omwaka guno.

Omulundi ogwasinga okuba ogwobulabe gwali mwaka gwa 2000 nga eggwanga lyafuna abalwadde be Ebola abasoba mu 400 ate abaafa basoba 220.