Amawulire
Uganda esabiddwa okukoppa Kenya, Bannauganda abali ebweru beenyigire mu kulonda
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina ekiri kuludda oluvuganya gavt ekya Uganda People’s Congress kisabye gavumenti ya NRM eri mu buyinza okukoppa eggwanga lya Kenya okuteekawo enkola esobozesa Bannayuganda abali emitala wa mawanja okwenyigiranga okulonda.
Kino kiddiridde Bannakenya abali ebweru w’eggwanga olunaku lw’eggulo okwetaba mu kulonda omukulembeze w’eggwanga lyabwe addako.
Mu Uganda bannabyabufuzi n’abakwatibwako ensonga bazze basaba akakiiko k’ebyokulonda okussa Bannayuganda abali ebweru w’eggwanga ku lukalala lw’abalonzi okwetaba mu kulonda.
Mu 2020, kkooti enkulu mu Kampala yawa bannansi abali mu makomera n’abo ababeera mu ebweru eddembe ly’okulonda wabula mu kulonda kwa 2021 akakiiko ky’ebyokulonda tekasobola kubatekerateekera nga kkooti bweyalagira olwobudde okuba nti bwali buyise.
Mu kwogerako ne bannamawulire ku kitebe kye kibiina mu kampala, Faizo Muzeeyi akulira ebyamawulire mu UPC, agambye nti gavumenti erina okutandika kati okukola enteekateeka okusobozesa Bannayuganda abalina ebisaanyizo abali mu nsi endala okwetaba mu kulonda okujja.