Amawulire
Uganda esindise abasirikale abalala e Somalia
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ya Uganda eriko ekibinja kyabasirikale ekippya kyetumye mu Somalia, okukolera wansi wa AMISOM.
Bano baatuuse mu kibuga Mogadishu akakwungeezi akayise nga bagenda kukola okumala omwaka mulamba, okunyweza poliisi yegwanga lino, okutumbula enfuga eyamateeka nobuvunanyizbwa obubolekedde.
Amyuka omudumizi w’ekibinja kino Daniel Okello, yeyamye nti bewaddeyo okukola okutebenkeza egwanga lya Somalia.
Agambye nti era begenda kukolagana ne poliisi zamawanga amalala, eziri mu gwanga lino.
Uganda yeemu ku mawanga agalina abasirikale mu AMISOM, ngabalala kuliko Kenya, Nigeria, Sierra Leone, Ghana ne Zambia.