Amawulire
Uganda essuubira okwongera okufuna ensimbi eziwera mu bitundibwa ebweru
Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko akavunanyizibwa ku bitundibwa emitala wa Mayanja aka Uganda export promotions Board kalian essuubi nti wagenda kubaawo okweyongera kwebyamaguzi ebifuluma eggwanga wetunamalirako omwaka gwe byensimbi gwe tulimu.
Wadde nga ekitongole ky’okutunda ebweru w’eggwanga kyakosebwa ekirwadde kya COVID 19 ng’ebirala byonna, abakakiiko kano bagamba nti eby’okutunda ebweru w’eggwanga ekitongole kino kitereera buli lukya era kigenda kusukka omutindo gw’omwaka oguwedde.
Bwabadde ayogerako ne Dembe fm, akulira akakiiko aka Uganda export promotions Board, Dr Elly Twineyo kino akitadde ku bintu ebirala gavumenti by’ekola okutumbula enkolagana y’ebyobusuubuzi.
Alina essuubi nti abatwala ebyamaguzi ebweru weggwanga bagenda kuleeta obuwumbi bwa Uganda obusoba mu 16