Amawulire
Uganda eyongedde okwerinda Ebola
Minisitule y’ebyobulamu eyongedde okunyweeza ensalo za Uganda ne Congo okutangira obulwadde bwa Ebola okutuuka mu Uganda
Atwala ebyobulamu mu bitundu bya wansi mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Anthony Mbonye agamba nti era bamaze okulagira abakulira amalwaliro agali ku nsalo ya Uganda ne Congo okubategeeza amangu ddala nga balina kyebekengedde
Obulwadde bwa Ebola okuva e Congo bwabulabe ddala era nga butta mangu
Omuntu bw’afuna obulwadde buno emala ebbanga lya nnaku 4 ne 16 ng’afa
Obulwadde buno butandika na musujja, omutwe, okulumwa enyingo n’abirala.