Amawulire

Uganda ne EU baakukolera wamu okukuuma ebibira

Uganda ne EU baakukolera wamu okukuuma ebibira

Ivan Ssenabulya

June 29th, 2023

No comments

Bya Ndaye Moses,

Gavumenti ya Uganda n’omukago gwa Bulaaya ogwa European Union, leero batadde emikono kundagano eyokolera awamu okukuuma ebibira eby’ongera okukendeera mu ggwanga.

Ebibalo ebigya okuva mu kibiina ky’Amawanga Amagatte ebyafulumizibwa mu ssaabiiti eno byalaze nti Afrika yafiirwa sukweya mailo 14,000 ez’emiti mu mwaka gwa 2022.

Bino we bigidde nga akakiiko akalondoola ebyobutonde kavudeyo okutandika okuteeka munkola ekiragiro kyomuk. ekiwera okutunda embaawo ebweru w’eggwanga.

Bwabadde ayogerako eri abakiise bomukago gwa bulaaya, Ssaabaminisita Robinah Nabbanja agambye nti pulojekiti eno ey’obukadde bwa Euro 40 ey’emyaka 10 eyatandika mu gwekumi nogumu omwaka oguwedde egenda kutunulira enyo ebibira ebisinga okukosebwa okuli Bugoma ne Mabira.

Era abikudde ekyama nti emirimu egisoba mu 150,000 gye gisuubirwa okutondebwawo mu myaka 10 pulojekiti gyegenda okuddukanyizibwa.

Mu kiseera kye kimu asabye kkampuni za wano ezitunda embaawo ebweru w’eggwanga okugoberera ekiragiro kya Pulezidenti mu kawefube wokutaasa ebirira.