Amawulire

Uganda nyweevu- Gavumenti ku Burkina Faso

Ali Mivule

November 1st, 2014

No comments

demo in buk

Uganda ekakase mu demokulasiya nga gavumenti tesobola kuvuunikibwa nga bwebyabadde mu Burkina Faso.

Omukulembeze w’eggwanga lya Burkina Faso yavuunikiddwa mu lunaku lumu oluvanyuma lw’okwagala okweyongeza ekisanja yadde ng’abantu be abafuze okumala emyaka 27.

Omuwabuzi wa pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyobufuzi Moses Byaruhanga agamba nti abantu abalowooza nti ebyabadde mu Burkina Faso byandituuka wano basaaga

Byaruhanga agambye nti Uganda erimu eddembe ng’abantu bakola n’okwogera byebagaala  kale nga kizibu okwekyaawa okutuuka ku ekyo.