Amawulire
Uganda olwaleero lwekuza olunnaku lwabasomesa
Bya Damalie Mukhaye
Omukulembeze wegwanga Yoweri K. Museveni olwaleero agenda kwetaba ku mukolo gwolunnaku lwabasomesa, ogugenda okubeera ku kisaawe e Kololo.
Olunnaku lwabasomesa munsi yonna, lukwatibwa, buli nga 5 Okitobba, wabula mu Uganda emikolo bagyongezaayo kubanga omukulembeze wegwanga teyali mu gwanga.
Ssabawandiisi wekibiina ekigatta absomesa mu gwanga, Uganda National Teacher’s Union (UNATU) nga ye Filbert Baguma agambye nti olwebbula lyensimbi era bagenda kutegeka omukolo gumu gwokka gwegugenda okubeera e Kololo.
Mungeri yeemu, abantu batono abaayitiddwa okwetaba ku mukolo guno, abasigadde baakugugoberera waka.
Kati mu bubaka bwe eri abasomesa, omuwandiisi owenkalakkalira mu minisitule yebyenjigiriza nemizannyo Ketty Lamaro bajjukizza nti amasomero bweganggulawo kijja kuba eri abasomesa okuyamba abayizi, bayige nokujuliriza ebbanga lyebamaze nga tebasoma.