Amawulire
Uganda ssi yakuva South Sudan
Gavumenti yakuno ssi yakupondoka olw’okusindikirizibwa okujja amaggye munda mu ggwanga lya South Sudan okutuusa nga embeera edidde ddala mu nteeko.
Minista w’eby’amawulire n’okulungamya eggwanga Rose Namayanja agamba nti obutabanguko bukyali munda mu ggwanga eryo, amaggye teri kusegula kigere kubanga galiyo kukuuma mirembe.
Minista okwogera bino kiddiridde gavumenti ya Norway okutegeeza nga ekitiibwa bwekitayinza kussibwa mu ndagaano ya mirembe wakati w’abayeekera ne gavumenti ng’amaggye ga UPDF gakyali mu south Sudan.
Namayanja ara egamba nti amaggye gakugenda maaso n’okukuuma bannayuganda abakyatubidde munda mu ggwanga eryo.
Uganda e erumirizibwa okwenyigira obuterevu mu kulwanagana okugenda maaso kyokka nga yyo erumiriza nti yayitibwa omukulembeze w’eggwanga eryo Salva Kiir