Amawulire

Uganda teraze ludda weegwa kubya Ukraine ne Russia

Uganda teraze ludda weegwa kubya Ukraine ne Russia

Ivan Ssenabulya

March 3rd, 2022

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Uganda teraze ludda kwegwa bwegaanye okulonda, ku kiteeso ekyayisiddwa ekibiina kyamawanga amagatte mu lutuula olwenjawulo olubaddewo, nebavumirira ekyakolebwa Russia okulumba egwanga lya Ukraine.

Mu lutuula olwenjawulo ekiteeso kino kiyise era nebabanja nti Russia, ejjeyo mbagirawo amagye gaayo mu Ukraine.

Amawanga 141 gegawagidde ekiteeos kino nebavumirira Russia, amawanga 35 bagaanye okulaga oludda kwebagwa atenga ensi 5 zeziwakanyzza ekiteeso.

Kakati ebiteeso ebiyisabwa mu ttabameruka wekibiina kyamawanga amagatte, tebiruma naye birina obuzito mu byobufuzi nebyobukulembeze, ku mutendera gwensi yonna.

Abatunuliir ensonga bagamba nti buwanguzi eri Ukraine era kyoleka engeri ensi gyegenda okwongera okuboola gavumenti ya Russia.

Omubaka wa Uganda owenkalakkalira mu lukiiko lwekibiina kyamawanga amagatte Adonia Ayebare, atenderezza era nasiima okusalawo kwa Uganda okubeera namapa wengwa.

Agambye nti Uganda yewaddeyo okukuuma emirembe n’obutebenkevu mu Africa ate neku mutendera gwensi yonna.