Amawulire
Uganda yeyamye obutabba byabugagga mu DR-Congo
Bya Ritah Kemigisa
Minisita avunayizibwa ku nkolagana ya Uganda namawanga amalala Henry Okello Oryem akakasizza egwanga nti tebalina kintu kyonna kakabere akaggo, kebajja okujja mu gwanga lya DR-Congo.
Amagye ge gwanga aga UPDF wetwogerera gali mu Buvanjuba bwa Congo mu lutalo olwokulwanyisa abatujju aba ADF.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2001, alipooya eykibiina kyamawanga amagatte wansi wobukulembeze bwa Ssabwandiisi Kofi Annan yalaga nti Uganda ne Rwanda baliko ebyobugagga byebanyagulula okuva mu gwanga lino bwebaali mu lutalo olwakulungula emyaka 3.
Uganda ne Rwanda, baali basindika amagye mu Congo, omwaka gwali gwa 1998 okuyambako okulwanyisa gavuenti eyali efuga.
Kati minisita agambye nti Uganda erina bingi byeyayiga okuva mu nsobi zaayo.
Bweyabuziddwa ku bikolobero ebirala, abajaasi byebatera okwetabamu okuli okusobya ku bakazi nokubatikka embuto, yagambye nti abanakikola ebibonerezo ebikakali bijja kuba bibalindiridde.