Amawulire

UNEB erabudde abaneewandiisa ekikereezi

UNEB erabudde abaneewandiisa ekikereezi

Ivan Ssenabulya

June 30th, 2023

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board kisabye abakulira amasomero okussa ekitiibwa mu nsalesale akomekereza  okuwandiisa abayizi abagenda okukola ebigezo byakamalirizo eby’omwaka guno.

Okusinziira ku mwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule, olwaleero yensalesale owomutendera ogusooka ogw’okulwawo okwewandiisa.

Kino Kiddiridde okwongezaayo ebbanga erya bulijjo ery’okwewandiisa okuva nga May 31st okutuuka nga June 7th.

Alabula nti abayizi abagenda okukola ebigezo bya siniya eyókuna ne yómukaaga abanaremerwa okwewandiisa nga ssaawa mukaaga ezékiro ziyiseewo bagenda kusasula ssente ez’engasi za bitundu 50%, ate aba p7 bagenda kusasula sente ezikola ebitundu 100%.

Ssente z’okwewandiisa ezaasooka zaali 34,000/= ku PLE, 164,000/= ku UCE ne 186,000/= ku UACE.

Kalule agamba nti omutendera ogusembayo ogw’okwewandiisa ekikeerezi gutandika enkya nga July 1st era abanewandiisa munkola eno bakusasula engassi ya bitundu 100% ku mitendera gyonna.