Amawulire

UNEB eyingidde munsonga zábayizi 27 abatakoze kigezo kya Kubala e Kakumiro

UNEB eyingidde munsonga zábayizi 27 abatakoze kigezo kya Kubala e Kakumiro

Ivan Ssenabulya

November 12th, 2022

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Ekitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kiyingidde munsonga zábayizi aba P7abaatakola kibuuzo kyabwe kyakubala okuvanyuma lwómukulu wessomero okudduka.

Abayizi bano 27 okuva kusomero lya st. Christine primary school, erisangibwa mu district ye Kakumiro, ku lwokubiri lwa ssabaiiti eno batuuka kikerezi nyo ku ssomero eddala gyebeewandisiza okukola ebibuuzo byakamalirizo, oluvanyuma lwa dayirekita, eyalina okubatambuza okubatuusaayo obutalabikako.

Kigambiba nti abayizi oluvanyuma batambuza bigere kilo mita nga 15 okutuuka kussomero wabula basanga banabwe banatera okumaliriza era tebakkirizibwa kutuula kigezo kino.

Wabula oluvanyuma bannauganda okwemulugunya ku kikolwa kino, akulira ekitongole kya UNEB Daniel Odongo, ategezeza nga bwebatandise okutunula munsonga ya bayizi bano.

Alagidde akulira ebyenjigiriza e Kakumiro okulondoola ensonga eyavirako abayizi bano obutakola kigezo kyabwe noluvanyuma balabe ekyokukola.