Amawulire
UPC ewabudde gavumenti ku kiyiriro kya murchison falls
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye by’obufuzi ekya Uganda people’s congress kirabudde gavumenti obutetantala kuwaayo Kiyiriro ku Murchison falls eri musiga nsimbi kuzimbako bibiro ly’amasanyalaze
Gavumenti eri mu nteekateeka z’akukwasa musiga nsimbi okuva mu ggwanga lya South African e kiyiriro ekiri ku murchson falls azimbeko ebibiro lya masanyalaze mu district ye kiryandongo ne Nwoya .
Nga ayogerako ne ddembe fm omwogezi w’ekibiina kya upc Michael Osinde awadde govt amagezi okusazamu ekirowoozo kino kuba kyakukosa nyo eby’obulambuzi by’eggwanga lino n’endabika y’obutonde
Wabula ye omwogezi w’ekitongole kya electricity regulatory authority Julius Wandera yavaayo nagyawo okutya kuno bweyategeeza nti musiga nsimbi ono yasaba kwetegereza kiyiriro kino oba kisobola okuvaako amasanyalaze so si kuzimbako bibiro naye era n’asaba abalina okwemulugunya kunsonga eno bakuleete nga ennaku 30 tezinagwako.