Amawulire

UPDF enokodwayo mu mivuyo gy’emmere e Karamoja, beewolereza

UPDF enokodwayo mu mivuyo gy’emmere e Karamoja, beewolereza

Ivan Ssenabulya

March 1st, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Eggye lye ggwanga erya Uganda Peoples Defence Forces (UPDF) linokoddwayo mu mivuyo gy’okugabana obuyambi bw’ emmere egendereddwamu okuganyulwa abantu abataliiko mwasirizi mu kitundu ky’e Karamoja.

Okusinziira ku kakiiko akavunaanyizibwa ku nsonga z’obwapulezidenti mu kiseera kino akanoonyereza ku bigambibwa nti ofiisi ya Ssaabaminisita (OPM) yakozesa obubi ebintu ebyalina okuweebwa abakaramoja, omwali amabaati, embuzi n’obuwunga, kigambibwa nti eggye lya UPDF lyafuna obuyambi bwemmere eno mu mbeera etategeerekeka bulungi.

Wabula mu kwewozaako, bwabadde alabiseeko mu kakiiko kano enkya ya leero, minisita avunaanyizibwa ku by’okwerinda n’abaazirwanako, Jacob Oboth Oboth agambye nti emmere eyaweebwa amagye yagira mu kiseera nga ne minisitule y’ensonga z’e Karamoja erimukugababa emmeere naye nga tebaliko ku bagabana.

Ategeezezza nti oluvannyuma lw’ebikwekweto by’okuggyako abakaramoja emmundu okuva mu July wa 2021 wansi w’ekikwekweto kya Operation usalaama kwa wote, kyavaamu okukwata n’okusiba abantu era amagye gaali geetaaga emmere okuliisa abasibe.