Amawulire

UPDF esse abayekera 11, 8 bakwatibwa némmundu 10 zinunuddwa

UPDF esse abayekera 11, 8 bakwatibwa némmundu 10 zinunuddwa

Ivan Ssenabulya

December 13th, 2022

No comments

Bya Rita Kemigisa,

Omwogezi w’eggye lyéggwanga erya UPDF Brig Gen Felix Kulayigye, ategezeeza nti abayeekera ba ADF 8 bakwatiddwa nga balamu mu lutalo olugenda mu maaso wakati w’abajaasi ba UPDF n’abayeekera ba ADF mu disitulikiti y’e Ntoroko.

Ekibinja ky’abalwanyi ba ADF nga 20 ku 30 mu kiro ekikeesezza olwaleero basomokedde mu mugga Semliki ne bayingira ku kyalo Kayanja mu mugombolola yé Bweramule mu disitulikiti y’e Ntoroko ne batandika okutigomya abatuuze.

Okusinziira ku mawulire agasembyeyo okufulumiziddwa Brig Gen Kulayigye, amagye ga UPDF gasse abayeekera 11, nebawamba 8 nga balamu n’okubaggyako emmundu 10 eza SMG.

Agamba nti ekikwekweto ky’okugoba abayeekera kikyagenda mu maaso.

Agavaayo galaga nti ebikumi n’ebikumi by’abantu b’omu kitundu babadde badduka mu maka gaabwe mu byalo okuli Kayanja, Kyobe, ne Kaapa mu mugombolola yé Bweramule ne Kayeera mu gombolola yé Kibuuku mu disitulikiti y’e Ntoroko.

Omubaka wa Ntoroko County Rwemulikya Ibanda ategeezezza Dembe FM nti embeera yabunkenke kyokka n’alaga essuubi nti embeera egenda kudda mu nteeko kuba amagye gayingidde munsonga eno.