Amawulire
UPDF ewanyisiganyiza amasasi nábayekera ba ADF e Ntoroko
Bya Rita Kemigisa,
Abajaasi ba UPDF enkya ya leero bawanyisiganyizza amasasi n’abayekera ADF mu disitulikiti y’e Ntoroko.
Bwabadde ayogerako ne Dembe FM, Kaminsona wa disitulikiti y’e Ntoroko, RDC, Rtd. Major Edwards Mugabirwe agamba nti babiri ku bayeekera ba ADF bakwatiddwa era ekikwekweto kikyagenda mu maaso okukwata abasigadde.
Okusinziira ku Major Mugabirwe, abayeekera ba ADF basigadde mu disitulikiti eno oluvannyuma lw’okulumba wiiki ewedde.
Agamba nti ekibinja ky’abantu bataano ekyasigaddewo kyakwatiddwa ku kyalo Kyaapa mu Bweramule Sub County bwebabadde bagezaako okusomoka omugga Semliki okudda mu nsiko z’e DR Congo.
Amagye ga UPDF gakufulumya kiwandiiko ku bibaddewo olwaleero.
Wabula abayeekera ba ADF ababiri abakwatiddwa olwaleero bawezeza omuwendo gw’abayeekera abaakakwatibwa okudda 10 oluvannyuma lw’obulumbaganyi obwakolebwa wiiki ewedde
Abayeekera 18 bebattiddwa mu bulumbaganyi buno