Amawulire
URA tesasula za bupangisa
Ekitongole ekikola ku ntambula z’enyonyi kiragiddwa okufumuula ab’ekitongole ekiwooza mu wofiisi Entebbe lwabutasasula za bupangisa
Bano nno yadde bazipeeka abalala, naye nga nabo babanjibwa obuwumbi butaano mu z’omupangisa
Ofiisi y’abawooza Entebbe tebagisasula era nga baludde nga babanjibwa naye nga tebenyenya
Akakiiko ka palamenti akakola ku bitongole bya gavumenti keekalagidde nti ofiisi wa Uganda Revenue authority eggalwe
Bino byonna biri mu alipoota ya ssababazi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka 2010/2011
Akulira akakiiko kano Florence Namayanja yeewunyizza engeri ate abalina okusolooza omusolo bwebagaana okusasula ng’agamba nti kino kiswaaza
Namayanja era agamba nti kkampuni ezisinga ezirina wofiisi Entebbe endagaano z’omupangisa zaggwaako mu mwaka 2009 era nga tezizibwanga buggya