Amawulire

Wakiso enywedde mu zinaazo akendo

Ali Mivule

February 3rd, 2015

No comments

Wakiso

Disitulikiti ye Wakiso y’enywedde mu distulikiti zonna akendo mu bigezo bya siniya y’okuna ebifulumiziddwa.

Disitulikiti eno evuddemu first grade 5009 ng’eddiddwaako Kampala ne first grade 3,329 nekuddako Mukono, Mbarara, Luweero, JJinja ne Bushenyi

Ate zzo ezisinze okukola obubi kuliko Buvuma,Namayingo,  Amorati ,Nakapiripiriti ,Bukwo Bulisa ,Kalangala, Katawi Bundibugyo ne Kotido

Ggo amasomo ga sayansi gakyekubya abayizi empi

Kyeyolese bulungi nti abayizi baakoze bubi essomo lya Mathematics , Biology ne Physics ate nga Chemistry ne Agriculture bbyo bikoleddwa bulungi.

Minisita w’ebyenjigiriza Jessica Alupo kino akitadde ku masomero g’obwannanyini agalemereddwa okussa ebikozesebwa mu magezo g’ebisomebwa

Alupo agamba nti kati bagenda kutabukira amasomero gano agatalina bikozesebwa okusobola okutaasa abayizi.