Amawulire
Wakiso ne Kampala bebasinze okuyingiza abayizi e Makerere
Bya Damalie Mukhaye
Disitulikiti ye Wakiso ne Kampala zezasinze okuyingiza abayizi mu ssetendekero we Makerere.
Olukalala lwetulabyeko Wakiso yayingizza abayizi 1,538 nga 10.5% ku muwendo ogwawamu.
Kampala yeyagoberedde nabayizi 1,005 nga bakola 6.8%, Mbarara baayingizza 590 byebitundu 4% nga bakutte ekifo kyakusattu.
Disitulikiti endala kuliko Masaka, baayingizza abayizi 503 nga bakola 3.4%, Mukono abayizi 460, Ntungamo 421, Jinja 343, Rugungiri 340, Luweero 304, Bushenyi 313 ne Tororo 320 saako endala.
Disitulikiti ye Amudat, Buvuma ne Ouke, zezasinze okuleeta abyizi abatono e Makerere, nga buli emu yaleese abayizi 6.
Mungeri yeemu Makerere University, awamu yayingizza abayizi omutwalo 1 mu 4,618 mu lusoma lwa 2021/22 nga bano bebagenda okutandika okusoma mu January omwaka ogujja.
Charles Ssentongo, akulira ebyokuyingiza abyizi e Makerere atubuliidde nti abayizi bano bakka kweyanjula ku ttendekero nga 19 January okubatekateeka, olwo batandike okusoma nga 4 February omwaka ogujja 2022.
Abasoma degree oba Bachelor of Business Administration bebasinze, ngabayizi 839 bebayingidde nekuddako ollowed aba Bachelor of Arts in Education (694), Bachelor of Social Sciences evening (600) ne Bachelor of Commerce (586) nabalala.