Amawulire
Wuuno omusomesa asobyanga ku bayizi
Bya Shamim Nateebwa
Omusomesa agambibwa okusobya ku bayizi akwatiddwa.
Omukwate awezza emyaka 24 nga musomesa wa Science ne Math mu P 7 ku ssomero lya The Sower Junior School e Lusanja-Kasangati Tawuni kkanso mu disitulikiti y’e Wakiso.
Ono yakwatiddwa abakulembeze ku kyalo oluvannyuma lw’okumufunako amawulire nga bw’aludde ng’asobya ku bayizi abawala.
Ssentebe we kyao kino Betty Nabbosa ne Lawrence Sserunjogi akulira abavubuka baatandise okunoonya abayizi bonna byesaobyako, era bagamba nti baakafunako 5.
Okumukwata kyaddiridde abatuuze okumwemulugunyaako nga bw’atwala abayizi mu muzigo gwe n’abasobyako.
Mu kiseera kino baamukwasizza poliisi ye Kiteezi n’emuggulako omusango gw’okujjula ebitanajja.