Amawulire

Yafeesi ya IGG eyongedde okukola ogwayo ku Balyake

Yafeesi ya IGG eyongedde okukola ogwayo ku Balyake

Ivan Ssenabulya

February 24th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye,

Yaffeesi ya kaliisoliiso wa gavumenti egamba nti erina wetuuse mu lutalo olwokulwanyisa obuli bwenguzi mu ggwanga.

Bano mu mwaka gwe byensimbi gwetukomekereza bakakola ku emisango 1170.

Bino byogeddwa omumyuka wa kaliisoliiso wa gavumenti, George Bamugemereire bwabaadde ayogerera mu lwebategese okubanyonyola byebatuuseko nókunyweza enkolagana wakati waabwe.

Anyonyodde nti ku misango 1170, 18 gyali minene ddala okuva mu bakungu ba gavt

Bamugemereire agaseeko nti basobodde okununula akawumbi kamu nomusobyo ensimbi enkalu ezaali zabbibwa né bintu ebikalu ebibaririrwamu obuwumbi obusoba mu 10 bye byakanunulibwa

Abakungu ba gavt 280 bebasangibwa nga gubasinga mu kulya enguzi era ne basaba abamateeka okubakangavula.

Bano okusinga bagyanga ensimbi mu wofiisi zaabwe mungeri ya kwewola ate ne zibalema okuzza olwobutabaawo ababanja.