Amawulire
yekyaaye neyetuga
Ebadde ntiisa eri abatuuze be Kyabi e Lugusulu Sembabule, omusajja ow’emyaka 33 bw’asangiddwa ku muti ng’alebeeta.
Omulambo gwa Hassan Majwiga gusangiddwa mu nimiro y’omu ku batuuze John Bbaale .
Muganda w’omugenzi Boniface Bwowe agambye nti omugenzi yababulako olw’okusatu oluwedde era babadde bamunoonya okuva olwo.
Bwowe agamba nti kibaweddeko bwebafunye amawulire nti ono abadde yetugira mu nsiko
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo Noah Sserunjogi agambye nti omulambo gw’omusajja ono bagusazeeyo nebagutwaala mu ggwanika nga n’okunonyereza ku kyavuddeko omugenzi okwetta bwekugenda mu maaso.