Amawulire
Yewadde obutwa n’abaana be
Omukyala ow’emyaka 24 yewadde obutwa n’afa oluvanyuma lw’okufuna obutakkaanya ne bba
Ono era obutwa abuwadde n’abaana be abali mu mbeera embi mu kadde kano
Gloria Nakeera omutuuze ku kyaalo Nabigasa afudde bamuddusa mu ddwaliro ate ng’abaana be okuli Viola Kiseeka ne Walcot Kiseeka bbo bakyataawa.
Okusinziira ku taata w’abaana bano Peter Kiseeka, mukyala we abadde yazaala omwana ebweru ng’abayombesa buli lunaku.
Ebyakazuulikawo poliisi biraga nti omukyala ono omukyala ono omusajja gweyazaalamu abadde amubanja omwana buli lunaku era olw’omuliro n’atendewalirwa.
Omwogezi wa poliisi mu bukiikaddyo bw’eggwanga Noah Serunjogi agamba nti Nakeera akozesezza butwa bwa mmese okujja mu bulamu bw’ensi