Amawulire
Yintaviyu ku bagala okusoma obwa nurse kutandika olwaleero
Bya Damalie Mukhaye
Minisitule yebyenjigiriza nemizannyo olwaleero egenda kutandika okukola yintaviyu ku bayizi omutwalo 1 mu 5,000 abagala okusoma obwa nurse mu matendekero agawera 11 okwetoloola egwanga.
Dr Hajat Safina Musene kamisona owa Business Technical Vocation Education and Training, agambye nti bebagenda okugezesa bebayizi abamalko S4 nga bagala okusoma midwifery, nursing, laboratory technology ne environmental sciences.
Agambye nti olwembeera yobulwadde bwa ssenyiga omukambwe, yintaviyu zino, tezigenda kubeera ku kitebbe kya minisitule yebyenjigiriza naye kwakubeera ku bifo ebyenjawulo, okwetoloola egwanga.
Kuno kuliko Kyambogo Public Health College, Ntungamo School of Nursing and midwifery, Kabale School of Nursing and Midwifery, Fort Portal college of health sciences, Hoima School of Nursing and Midwifery, Lira school of comprehensive nursing, Arua School of Nursing and Midwifery, ku kitebbe kya disitulikiti ye Moroto, Kabong School of Nursing, Mbale College of Health sciences neku ttendekero lya Jinja School of nursing and midwifery.