Amawulire
Zebulakulosingi-abazinyooma bakukwatibwa
Poliisi egenda kutandika okukwata emmotoka zonna ne pikipiki ezitassa kitiibwa mu Zebra Crossing
Kiddiridde obubenje obuyitiridde mu bifo ebyenjawulo bino ebisalibwaamu ng’abantu nebwebabituukamu, basigala bavulumula emmotoka
Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti abapoliisi bonna bamaze okulagirwa okukwata abo bonna abattaasa kitiibwa mu zebula kulokisingi
Onyango agamba nti kino kiremeddeko nga kati balina kukozesa maanyi
Okukoona oba okuyisa amaaso mu zebulakulosingim, omuntu asasula okuva ku mitwalo kkumi okutuuka ku kakadde oba okusibwa okuva ku mwezi gumu okutuuka ku mwaka mulamba