Amawulire
Zuma mubbi- balwanyisa enguzi
Omukulembeze w’eggwanga lya South Africa alumbiddwa lwakuzimba maka agakirako olubiri nga bangi bagamba nti akozesezza nsimbi za muwi wa musolo
Omu ku bakyala abamanyiddwa ennyo olwokulwanyisa enguzi mu ggwanga lino Thuli Madonsel agambye nti amaka ga Zuma agobwannanyini okuli ekidiba ekiwugirwaamu ne faamu byamazeewo obukadde bwa doola 23 ez’omuwi w’omusolo.
Ono agamba nti Zuma ky’akola kikyaamu okunyunyunta abantu ba bulijjo
Ayagala Zuma asasule ensimbi ezoogerwaako