Amawulire
ZZiwa agaanye okuva mu ofiisi
Sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Zziwa agamba nti abamugobye bamala biseera kuba tajja kuva mu ofiisi
Ng’ayogerako eri bannamawulire, Zziwa agambye nti amateeka agagobererwa okugoba sipiika tegagobereddwa kale nga byonna ebyakoleddwa bimenya mateeka
Zziwa agamba nti tewali ngeri Lukiiko lw’atamanyiiko gyeruyinza kutuula nerumugoba.
Olukiiko olwagobye Zziwa lwatudde Nairobi era ababaka nebasalawo nti agira ng’adda emabbali nga bw’anonyerezaako.
Oguvunaanibwa Zziwa gwakuvvoola ofiisi n’obutakola mirimu gye bulungi.
Zziwa yasikiziddwa munna UPC Chris Opoka kyokka ng’ono naye ekibiina mw’ava kimutabukidde
Aba UPC bagamba nti bbo tebasobola kukolagana ne Opoka yadde yagudde mu bintu.
Amyuka akulira ekibiina kino Joseph Bbosa agamba nti Opoka yabayita mabega okutuuka mu palamenti era okuva olwo baasalawo nti bamuboole.
Ng’aba UPC bakyegaana Opoka, bbo ababaka abava mu Buganda bagamba nti palamenti ya East Africa ejjudde kavuyo kubanga ababaka abaliyo balondebwa mu kavuyo.
Akulira akabondo ka Buganda mu palamenti Godfrey Kiwanda agamba nti ekyakoleddwa ku Zziwa kinafuya abakyala era nga kirina okuvumirirwa
Mu ngeri yeemu Kiwanda agamba nti ababaka bonna abava mu Uganda bajjibweeyo , okulonda okupya okutaliimu kavuyo kutegekebwe