Amawulire
ZZiwa ayongedde okutabuka- teri kumpozesa
Eyawummuziddwa ku bwa sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Ziiwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa empisa nga bweyalagiddwa.
Zziwa yawummuzibwa ku bwa sipiika n’asikizibwa munna UPC Chris Opoka okusobozesa akakiiko akamunonyerezaako okukola emirimu
Kati Zziwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko kubanga kakulirwa Dorah Byamukama aludde ng’amulwanyisa era nga yali yamwesimbako kale nga tayinza kubulamu kyekubiira.
Zziwa agamba nti okusika omuguwa okuliwo mu babaka ba Uganda tekwonoona linnya lye yekka wabula n’erya Uganda