Amawulire
Uganda nkugu mu kulya enguzi
Uganda ekyakwata kya ku mwanjo mu mawanag agasinga okulya enguzi mu nsi yonna Ku mawanga 175 agatunuuliddwa, Uganda ekwata kya 142 okuva wansi ku mawanga agasinga okulya enguzi Bino bifulumidde mu alipoota ekoleddwa ekibiina kya Transparency International ng’eraga nti Uganda Uganda ne Kenya ge mawanga […]
Abaana abakulira amaka basusse
Abakulembeze ba disitulikiti ye Ssembabule balaze obweralikirivu olw’abaana abato abakulemberamu amaka gaabwe okweyongera. Kino kivudde ku bazadde b’abaana bano okufa siriimu nga abasinga bafuuka bamulekwa nebalabirira bato baabwe. Okusinziira ku akulira eby’obulamu ku muluka gwe Mitete Haji Hamid Babu Mpaka ebyalo ebisinze okukosebwa […]
TTabamiruka wa NRM agende mu maaso- Kkooti
Kkooti enkulu egobye okusaba okwakolebwa nti ttabamiruka wa NRM ayimirizibwe Okusaba kuno kwaali kwassibwaawo munna NRM Capt Daudi Maguru agamba nti ensonga ze ne pulezidenti Museveni zibadde tezikolwangako kale nga kikyaamu olutuula okugenda mu maaso. Maguru agamba nti yategeragana ne pulezidenti Museveni nti tajja kuddamu […]
ZZiwa ayongedde okutabuka- teri kumpozesa
Eyawummuziddwa ku bwa sipiika wa palamenti ya East Africa Margaret Ziiwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko akakwasisa empisa nga bweyalagiddwa. Zziwa yawummuzibwa ku bwa sipiika n’asikizibwa munna UPC Chris Opoka okusobozesa akakiiko akamunonyerezaako okukola emirimu Kati Zziwa agamba nti tajja kulabikako mu kakiiko kubanga […]
Abe Sese bagaala kwekutula ku Buganda
Ng’ebitundu ebitali bimu byongera okusaba okwetongola, n’abasese bagaala kwesala ku Buganda. Akulira abasese Bijwenge Bukulu Kasirye agamba nti bamaze okuwandiikira pulezidenti Museveni ne minisita akola ku nsonga z’ekikula ky’abantu nga babategeeza ensonga zaabwe Kasirye agamba nti tebassangako mukono ku ndagaano ne Bungereza kale nga balina […]
Abagwiira bayooleddwa
Ekitongole ekikola ku bantu abafuluma n’okuyingira eggwanga kikutte bannansi ba Lebanon 11 ababadde bakolera wano mu bukyaamu. Bano babadde bakolera kkampuni ya Orange telecom Ekikwekweto kino kizze wakati mu kwemulugunya nti bannansi ba Lebanon abaagula kkampuni eno babadde bakozesa banaabwe abayingira eggwanga mu bukyaamu. Amyuka […]
Omukulembeze wa Kenya atabuse ku batujju- agobye abanene
Omukulembeze w’eggwanga lya Kenya Uhuru Kenyatta ayongedde okutabuka ku butujju ng’agobye minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga ne ssabapoliisi. Kiddiridde obulumbaganyi obuggya obukoleddwa ku Kenya okukkakkana ng’abantu 36 bafudde Kenyata alangiridde nti ssabapoliisi David Kimayo abadde alekulidde. Kenya ezze erumbibwa abatujju nga ssabbiiti ewedde […]
Endaga muntu ziziino
Pulezidenti Museveni asiimye ebitongole bya gavumenti ebitali bimu ebikoze ku by’okukuba endagamuntu Bino pulezidenti abyogedde alambula ekifo kaadi zino webazikubirwa e Kololo. Ono abadde awerekeddwaako minisita akola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Gen Aronda Nyakairima, akulira akakiiko akalondesa Eng Badru Kiggundu n’abalala. Ng’ayogerako eri bannamauwlire […]
Temuyiwa musaayi kukyuusa bukulembeze
Abavuganya basaanye okwewala okukozesa amakubo g’okuyiwa omusaayi mu kawefube w’okuleetawo enkulakulana mu ggwanga. Obubaka buno buvudde eri eyali senkaggale wa DP Paul Kawanga Ssemogerere bw’abadde ayogerako eri ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti ku palamenti olwaleero. Semwogerere agambye nti abavuganya babadde beekalakaasa ekintu ekikosa emirimu […]
Aba Taxi bavunaaniddwa
Abagoba ba taxi abakwatibwa nga beekalakaasiza ku ssaawa ya kwiini bagguddwaako misango gyakukuma mu bantu muliro n’okweyisa mu ngeri etasaana Bano emisango gibasomeddwa mu maaso g’omulamuzi wa kooti ya City Hall Erias Kakooza era bonna nebegaana emisango. Kigambibwa okuba nga badereeba bano beetaba mu kukuba […]