Amawulire
Katikkiro ayanjizza ebye bulaaya
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga olunaku olwalwero ayanjulidde obuganda byeyajja mu olutabalo emitala wa Mayanja gy’abadde ng’akungaanya ettofaali Katikiro agambye nti ensmbi ezisoba mu bukadde 435 zeezakunganyizibwa mu ssabbiiti ebbiri zeyamaze emitala w’amayanja. Wano w’ansizidde n’asaba abantu ba Ssabasajja okwongera okuyigira ku mawanga g’abazungu, […]
Endagamuntu ziwedde
Gavumenti emalirizza okukubisa endaga muntu akakadde kalamba . Omwogezi wa minisitule ekola ku nsonga z’omunda mu ggwanga Pamela Ankunda agamba nti okugaba endagamuntu kwakutandika omwezi ogujja Ankunda agamba nti abamu ku bawandiisa abantu tebaafuna byonna byetaagisa nga y’ensonga lwaki bakereeye Ajjukizza bannayuganda wabula nti okwewandiisa […]
Omwana akazizza ssentebe
Omuyizi ow’ekibiina ekisooka ku ssomero lye Namwaya erisangibwa e Tororo awunikirizza abantu bw’alumbye ssentebe wa disitulikiti ng’ayogera n’amubuuza lwaki essomero lye teririna kabuyonjo SSentebe Emmanuel Osuna abadde akyaddeko ku ssomero lino okulaba oba abayizi balya ekyemisana Omwana ono ow’emyaka 8 ategerekese nga Massey Omalla ayambalidde […]
Gabula ayongedde okunyweera
Kkooti etaputa ssemateeka egobye okusaba okwakoleddwa ekibinja ky’abasoga nti William Nadiope Gabula aleme kukola mirimu gya bwa kyabazinga Abalamuzi abasatu abatuula mu kkooti eno nga bakulembeddwamu Remmy Kasule bategeraganye okugoba okusaba kuno oluvanyuma lw’abakussaayo okulo Wilson Muwereeza ne James Kawuuta bonna obutalabikako mu kkooti. […]
Ekijjukizo e Namugongo kutambudde
Okuzimba ekifo ky’ebyafaayo eky’omulembe ku kiggwa kya bakulisitaayo e Namugongo kutambula bulungi Ssabasumba wa kkanisa Stanley Ntagali olwaleero ategeezezza bannamawulire nti obukadde 172 zeezakakunganyizibwa okuwagira omulimu guno. Ntagali mugumu nti omwaka ogujja wegunatuukira ng’empagi 47 ku ludda lwa bakulisitaayo n’abakatolika ziwedde Ssabalabirizi eyawummula era nga […]
Tumwebaze eyise ba meeya
Minisita wa kampala Frank Tumwebaze ayis eolukiiko lwa ba meeya ba divizoni mu kibuga nga luno lwakuteesa ku kwekumulugunya okuliwo ku nzirukanya y’emirimu Meeya we Nakawa Ben Kalumba atutegeezezza nti bakukozesa akakisa kano okutuusa amaloboozi gaabwe ku birudde nga bibaluma Kalumba agamba nti era bakwanja […]
abakyala tebalina kusasulwa- Ba ddembe lya bakyala
Okuwulira okujulira okwatwaalibwa abakyala wansi w’ekibiina kya MIFUMI nga bagaala eby’okusasula abakyala nga babawasa biveeyo Kkooti etaputa ssemateeka yagoba okusaba kwa bano ng’egamba nti kiri mu nnono abakyala okusasulwa kale nga tewali nsonga lwaki kivaawo. Aba MIFUMI bagaala kkooti esazeemu ebyasalibwaawo kkooti nga bagamba nti […]
South Sudan efuumudde abagwiira
Eggwanga lya South Sudan lifuumudde abagwiira bonna abakolera mu ggwanga lya South Sudan. Muno mulimu ne bannakyeewa ng’emirimu gyonna gigenda kuddamu bantu baabwe okuva nga 15 omwezi ogujja. Okusinziira ku mukutu gwa AFP, gavumenti ya South Sudan mu kiwandiiko ky’efulumizza etegeezezza nga kino bwekikoleddwa okuwa […]
Abaalya abantu basigadde mu nkomyo
Abagambibwa okulya abantu e Rakai bagaaniddwa okweyimirirwa Asaf Tumuhimbise ow’emyaka 50 ne mukyala Nuwaga 28 basigaddeyo mu kkomera ku biragiro by’omulamuzi Margaret Oumo Oguli. Baali basaba nti beyimirirwe kubanga balwaddelwadde nga tebasobola mbeera ya kkomera Tumuhimbise ategeezezza kkooti nti n’emyaka alina mingi ng’alina Asima kale […]
Temwemulugunya nga mugaana okulonda- Kadaga
Nga Uganda yegatta kunsi yonna okukuzza olunaku lwa Democracy mu Uganda, abalonzi balabudwa okwevuma abakulembe bebalina, songa benyini bebagaana okwenyigira mukulonda. Kuno okulabula kukoledwa speaker wa uganda , Rebecca Kadaga bwabade agulawo emikolo emikulo egy’okukuzza olunaku luno. Kadaaga akaladde, nategeeza nga abalonzi bwebatasaana kudamu kunyega […]