Amawulire
Okuwola abayizi ensimbi- abasoba mu 1000 bamaze okuyitamu
Abayizi 1269 bebakakasiddwa okuwolebwa ensimbi za gavumenti okweyongerayo okusoma mu matendekero agaawaggulu. Abalenzi bali 986 nga bakola ebitundu 77.7% sso nga abwala bali 283 by’ebitundu 22.3% . Bbo abayizi 4 abalina obulemu ku mibiri gyaabwe bonna abaasabye, baakakasiddwa. Bano balondeddwa okuva mu disitulikiti 108 wabula […]
Okujjukira okwekalakasa mu Buganda- aba DP bakukungubaga
Bamusaayi muto ba DP e Kayunga bategese okusaba okujjukira abaafira mu kwekalakaasa okwafumbekera ebitundu bya Buganda mu mwaka 2009. Nga boogerako eri bannamawulire, abavubuka bano era basabye gavumenti okufulumya omuwendo gw’abantu abaafira mu kwelakaasa kuno Basabye era ne ssabanyala baker Kimeze okwetonda olw’okuvaako okuyiwa omusaayi […]
Abatunda firimu batabuse
Abatunzi ba firimu wano mu kampala abasoba mu 50 bakedde kugumba ku kkooti y’eby’obusuubuzi wano mu Kampala nga omusango ku tteeka ly’ebiyiiye eby’obwongo erya Copy right gutandika okuwulirwa. Abasuubuzi bano baduuse zambwa baabo ku kkooti oluvanyuma lwa poliisi n’abazanyi ba firimu okutandika okuggala amaduuka gaabwe […]
Okubala abantu kwongezeddwayo
Okubala abantu kwongezeddwayo olunaku lumu okutuuka ku sande ya weeki eno. Okubala kubadde kulina okukomekerezebwa olunaku lw’enkya nga 6. Akulira entekateka z’okubala abantu Francis Mashate agambye nti kino kikoleddwa oluvanyuma lwabamu ku babala abantu okusaba bongezebweyo akadde okumaliririza ebitundu byabwe. Mashate era agambye nti enkuba […]
Abaaganye okwewandiisa babalumbye waka
Nga enkuba ekyafudemba, gavumenti esazeewo okubala abo bonna abeesisigaliza ku mpaka. Amakya galeero abakulira ekitongole ky’ebyemiwendo mu ggwanga bazinzeeko Ntinda nga bawerekerako ababala abantu oluvanyuma lw’abananyini maka 3 okugaana okubalibwa. Bano babadde bagaddewo geeti zaabwe nga era okusinga bagwiira. Omwogezi w’ekitongole kino Godfrey Nabongo agamba […]
Moyo- okubala kuyimiriziddwa, abantu beekalakaasizza
Nga okubala abantu kukomekerezebwa olunaku olw’enkya, kkwo e Moyo kuyimiriziddwa okutuusa olunaku olw’enkya. Kino kiddiridde ekibinja ky’abasudan okukwata SSentebe wa distulikiti eno nebamusaza ensalo okutuuka mu south Sudan gyakyakwatiddwa n’okutuusa essaaa eno . Kati omubaka wa pulezidenti e Moyo John Abingwa agamba baasindise dda ekibinja […]
Ababaka ba Buganda bawanda muliro ku ssabanyala
Gavumenti erabuddwa okwewalira ddala okutongoza abakulembeze b’ennono abataatongozebwa mu ssemateeka. Bweyabadde ku mukolo gw’amatikira ga Ssabanyala Maj Baker Kimeze ag’omulundi ogw’omukaaga e Kayunga olunaku olw’eggulo,pulezidenti Museveni yatongozza obukulembeze bw’abanyala n’abaluuli bano nga bano kitundu ku Buganda. Pulezidenti yategezezza nga bweyatuuka ku nzikiriganya ne Buganda kubanga […]
Diiru y’eggaali y’omukka ya mankweetu
Ababaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti bagaala abakulu mu minisitule ekola ku by’enguudo banonyerezebweeko Obuzibu buva ku nsimbi obusiriivu 20 obwassibwa mu kuzza obuggya entambula y’eggaali y’omukka Basabye spiika okussaawo akakiiko akanonyereza ku bikolwa bya minisita John Byabagambi mu nteekateeka yonna. Ababaka bawadde sipiika ennaku […]
Abasuubuzi ewa Kisekka beekalakaasizza
Embeera ezze mu nteeko mu katale ka Kisekka abasuubuzi gyebabadde batanudde okwekalakaasa. Abasuubuzi bano bamaze akabanga nga beezoba ne poliisi gyebagamba nti ekutte munaabwe okutuuka aba militale bwebayitiddwa Poliisi ekozesezza omukka ogubalagala okugugumbulula abasuubuzi bano ababadde bakumye ebipiira mu luguudo. Aduumira poliisi mu bukiikaddyo bwa […]
Ababala bayiseeko mu lubiri lwa Ssabassajja kabaka
Olunaku olwalero abantu ababeera mu lubiri lwa Ssabasajja e Kireka babaliddwa mu kubala abantu okwekukungo okukomekerezabwa ku lw’omukaaga luno . Okubala kuno kukulembeddwamu Margret Nakirya, okulira okubala abantu mu wakiso ngayambibwako ssentebe wa distrist ye wakiso Matia Lwanga Bwanika ne Mayor we Kira Mamerito Mugerwa. […]