Amawulire

Odoki abadadde kkooti- tekinnumye

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Eyali ssabalamuzi w’eggwanga Benjamin Odoki agamba nti eky’obutamwongera kisanja mu kifo kino tekimulumye kubanga yakola dda erinnya lye. Kkooti etaputa ssemateeka esazeewo nti eby’okwongera Odoki ekisanja bivvoola ssemateeka kubanga yakoona dda emyaka 70 egyogerwaako ssemateeka omukozi wa gavumenti okuwummulirako Mu mboozi eya kafubo ne Dembe […]

Abaasengulwa bongedde okutabuka

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Poliisi efafaganye n’abatuuze b’omu ndeeba abaasengulwa okuva mu ggaali y’omukka. Kiddiridde abantu bano okwekalakaasa nga bakulembeddwaamu omubaka John Ken Lukyamuzi era ng’ono wetwogerera ng’akwatiddwa Bano babadde balwana lutalo nga ne kkooti eyongezaayo eby’okusengula abantu bano okutuuka nga 12 omwezi guno. Amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu […]

Essomero eryayidde liggaddwa

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Ab’obuyinza e Masaka bagadde essomero lya St Jude Secondary School. Ebisulo bibiri byebyayidde nga n’abayizi abawera bazirise nga balabye omuliro guno. Akulira essomero lino Lukwago Mbaga bakkiriziganyizza okuggala essomero lino okusobozesa okunonyereza okugenda mu maaso Mbaga agamba nti munaana ku bayizi abasoba mu kkumi abazirise […]

Abaafa mubookye- Liberia

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Gavumenti mu ggwanga lya Liberia eragidde nti abantu bonna abafa obulwadde bwa Ebola bookyebwe Kiddiridde abantu abasinga okugaana okwewala abafudde obulwadde buno ekibwongedde okubuna Mu ggwanga lya Nigeria nno era obulwadde buno butuuse nga waliwo omusawo abufunye Obulwadde bwa luno bwebwakasinga okuba obubi era nga […]

Odoki tasobola kubeera ssabalamuzi nate- Kkooti

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

Benjamin Odoki eby’okuddamu okubeera Ssabalamuzi w’eggwanga abifuuye mu ngombe. Abalamuzi bana ku bataano mu kkooti etaputa ssemateeka basazeewo nti ono okuddamu okugonomolwako ogufo guno eba nsobi era Kulinyirira ssemateeka. Abalamuzi bano okuli  Solome Barungi Bbosa, Eldad Mwangusha, Lilian Tibatemwa ne  Remmy Kasule bonna bakkiriziganyizza nga […]

Abavubuka bayooleddwa

Ali Mivule

August 4th, 2014

No comments

  Poliisi ekedde kulwanagana n’abavubuka abakedde okugumba ku kibumbe ky’obwetwaaze wali ku speke road nga bemulugunya ku bbula ly’emirimu mu ggwanga. Bano babadde bakutte ebipande ebivumirira gavumenti gyebalumiriza obutabafaako. Abasoba mu 10 bakwatiddwa nga bano babadde bakaalakaala ne sanduke y’abafu nga bakumye n’ekyooto okukungunbaga Bino […]

Bannadiini balemedde ku nsonga ku bisiyaga

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Bannadiini baweze okwongera okulwanyisa ebisiyaga wadde nga kooti ettaputa ssemateeka yasazeewo nti etteka ery’ebisiyaga lyayisibwa mu bukyaamu. Abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka kubanga  palamenti teyalina babaka bamala. Abalamuzi […]

KCCA emenye obuyumba obulala

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Ekitongole kya Kampala capital city authority kisanyizzaawo obuyumba obwazimbibwa ku makubo okuva e e Bakuli okutuuka e Kasubi ku masiro  ne ku luguudo lwa Makerere hill road. Obuyumba obumenyeddwa kuliko amabaala, obuymba bwa chapatti, wamu n’obuyumba obulala. Ye atekeratekera ekitongole kya KCCA Joel Kiggwe agambye […]

Akabondo ka NRM keekanasalawo ku bisiyaga-Museveni

Ali Mivule

August 2nd, 2014

No comments

Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategeezezza nga bw’agenda okwebuuza ku kabondo k’ababaka ba NRM ku nsalawo ya kkooti ku tteeka ly’ebisiyaga. Olunaku lwajjo abalamuzi 5 nga bakulembeddwa akola nga ssabalamuzi Steven Kavuma, bonna bassiza kimu nti sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga teyalina buyinza kuyisa tteeka […]

Abayizi bayooleddwa

Ali Mivule

August 1st, 2014

No comments

Poliisi eyodde abayizi b’amattendekero agawaggulu abasoba mu 30 lwakwekalakaasa nga bagamba ensimbi ezibawolebwa okweyongerayo okusoma zamunyoto. Bano nga begatira mu kibiina kyaabwe ekibataba mu ggwanga, balumbye ofiisi za minisitule y’ebyenjigiriza nga bagamba engabanya y’ensimbi zino yakwatibwa bubi. Wano poliisi nga ekulembeddwamu  aduumira poliisi ya CPS  […]