Amawulire
ababiri bafiiridde mu kabenje
Wano mu industrial area Poliisi ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abagoba ba bodaboda, nga bano babadde beesomye okugajambula omuvuzi w’ekimotoka kya bulekedawuni atomedde banaabwe 2 n’abatta Ekimotoka kino number UVV 599 kiyingiridde bodaboda ezibadde zitambula agaazo,ekiggye abagoba ba bodaboda abalala mu mbeera nebaagala okukuba abadde […]
Namugongo atandise okuwuuma- abalamazi bayiika
Ng’ebikumi n’ebikumi byabakulisitu bakyesomba okugenda e Namugongo okulamaga olwabajulizi abatiibwa, bbo abakulira ekijukizo kya St Balikuddembe baakujukira nga bwejiweze emyaka 50 bukyanga bajulizi bano balangirirwa mu lubu lw’abatukirivu. Mu kino bategese ekitambiro ky’emisa ey’okukulemberwamu omuyambi wa ssabalabirizi mu bulabirizi bw’e KampalaBishop Cristopher Kakooza . Omu […]
Luweero- Pulezidenti Museveni alumirizza DP okubba obululu
Pulezidenti museveni kyaddaaki avuddemu omwaasi ku byavudde e Luweero. Pulezidenti agamba nti obubbi bw’obululu bususse mu nkambi ya DP Ono agamba nti DP yatandika okubba akalulu mu mwaka gwa 1961 era nga ne Luweero yakoze ekintu kyekimu Asonze ne ku Bushenyi, Entebbe ne Kasese gy’agamba […]
Yaaya omutemu wuuno
Mu ggwanga lya Bungereza, omukozi eyawaayo omwana wa mukama we omulenzi nebamukozesa mu bikolwa by’obukaba esibiddwa emyaka 16 Omukyala ono Claire nga wa mu kibuga Cardiff yawaayo omwana ow’emyaka 3 eri ogusajja ogwamukozesa mu bikolwa by’okwegatta ebya buli kika omuli n’okumusiyaga Omuwala ono bino byonna […]
Okulongoosa Namugongo kutandise
Ku biggwa by’abajulizi e Namugongo, okulongoosa buli wamu kutandise ng’ebula mbale ol’abajulizi lutuuke Ku kiggwa ky’aba katolika, okulongoosa ebifo ebiyitamu abantu kugenda mu maaso n’okugogola emyaala Bwana mukulu w’ekigo kye Namugongo Faaza Emmanuel Kimbowa agamba nti olunaku Mulindwa werunatuukira ng’ekiggwa kitemagana nga mukene Faaza agamba […]
Omumuli gwa poliisi gwongedde okutambula
Poliisi olwaleero egenze mu maaso n’okutambuza omumuli gwaayo ogwa poliisi empya nga kati gutwaaliddwa e Mukono Gusoose ku poliisi y’oku luguudo lwe Kira okudda ku kira division police nga tegunnatuuka mukono. Ng’ayogerera ku mukolo gw’okutambuza omumuli, aduumira poliisi mu kampala n’emiriraanoi Andrew Felix Kaweesi agambye […]
Abavubuka ba NRM balumbye ekitebe ky’ekibiina
Enkayana mu kibiina kya NRM Zikutte wansi ne wagulu nga kati waliwo ekibinja ky’abavubuka okuva mu zi yunivasite ezenjawulo abasazewo okulumba ekitebe ky’ekibiina wali e Kyaddondo nga bawakanya endoolito ezigenda maaso mu kibiina kyaabwe. Bano era baagala akulira abavubuka ba NRM bonna mu ggwanga Dennis […]
Entalo mu NRM zifuuse Namulanda
Akakiiko akakwasisa empisa ak’ekibiina kya NRM tekannasalawo kyakukolera eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga prof, Gilbert Bukenya olw’okuwagira ow’oludda oluvuganya gavumenti Brenda Nabukenya mu kulonda kwe Luweero okwakaggwa. Wiiki ewedde Bukenya yakubira Nabukenya kampeyini ekimenya ssemateeka wa NRM. Kati akola nga ssabawandiisi w’ekibiina kya NRM Richard Twodong […]
Emirambo 2 e Ssembabule
Entiisa ebutikidde abatuuze mu district ye Sembabule oluvanyuma lwokugwa ku mirambo ebiri mu bitundu bibiri ebyenjawulo. Abagenzi bategerekese nga Moses Muhwezi omutueze we Kabale mu gombolola ye Lwebitakuli nga ssentebe w’ekyalo kino Godfrey Tumwekwase ategezezza nga omulambo gwono bwegusangiddwa nga gugangalamye kumpi n’edduuka ly’omutuuze ategerekese […]
Abalamazi batandise okutuuka
Abalamazi abasoba mu 100 beebamaze okutuuka e Namugongo ng’ebula ennaku ntono olunaku lwa bajulizi lutuuke Akola ku nsonga z’abajulizi ku kiggwa e Namugongo, Father Joseph Muwonge agamba nti mu bazze mwemubadde n’abatambuzza ebigere okuva e Rwanda Abalala bavudde Bushenyi, Masaka, ne Nebbi. Father Muwonge agamba […]