Amawulire
Ababala abantu bakulya nga bavubi
Buli agenda okuwebwa omulimu gw’okubala abantu mu ggwanga wakufuna emitwalo 20 buli lunaku. Omukwanaganya w’enteekateeka eno mu ggwanga Francis Mashate agamba abantu 8000 bebasubirwa okuweebwa emirimu. Mashate agamba buli omu era wakuwebwa ssente z’entambula, ekyemisana nga era okulabirira bano kwakumalawo obuwumbi 16. Akulira ekitongole ekivunanyizibwa […]
Luweero- Ebikozesebwa bituuse
Akakiiko k’ebyokulonda kamalirizza okusindika ebinakozesebwa mu kuddamu okulonda omubaka omukyala owa district ye Luweero. Ssentebe w’akakiiko kano Badru Kigundu agamba nti bino byonna byakukuumibwa poliisi nga tebinawerezebwa mu magombolola ewagenda okulonderwa. Kigundu ategezezza nga bwebalongosezza enkalala zonna nga kati basubira abalonzi abasoba mu 180,000 mu […]
Tetujja kuva South Sudan- Katumba Wamala
Ssabaduumizi w’amaggye g’eggwanga Gen Katumba Wamala asambazze abyafulumidde mu alipoota y’ekibiina ky’amawanga amagatte yonna nti amaggye ga UPDF gaakozesa Bomu zisabyalo mu ggwanga lya South Sudan. Gen Wamala agamba alipoota eno ekontana n’eya 2013 eyalaga nga bomu zino bwezaali edda munda mu ggwanga lya South […]
Katikkiro afulumizza embalirira ku ttofaali
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga afulumizze enyingiza kko n’enfulumya y’ensimbi z’azze akungaanya mu kawefube wokuzzaawo amasiro gonna kko nekizimbe ekigya ekya Masengere. Bw’abadde ayogerako eri olukiiko olutudde leero, Katikiro agambye nti obuwumbi busatu mu obukadde 127 bwebwakagenda mu nsawo ya Buganda okuva mu makubo […]
Mulonde NRM- Museveni
Pulezidenti Museveni Yoweri olwaleero asiibye Luweero ng’ayiggira munna NRM Rebecca Nalwanga akalulu Olukungaana lw’ayogereddeko lubadde wobulenzi ng’eno gy’asabidde abatuuze obutesembereza bakulembeze babalimba banywereere ku NRM Agambye nti basaanye okulonda abakulembeze abanawagira enteekateeka za gavumenti okwewala okuva ku lusaniya Pulezidenti agenda kubeera Bombo olunaku lw’enkya ate […]
Okulwana e South Sudan- abasuubuzi balabuddwa
Abasuubuzi abaddukanyiza egyaabwe mu ggwanga lya South sudan balabuddwa obutasukka kibuga Juba Kiddiridde gavumenti y’eggwanga lino n’abayekeera okuvvoola endagaano y’okussa wansi emmundu nebaddamu buto okulwana. Akulira omukago gwa bannayuganda abakolera mu ggwanga lya South Sudan, Rashid Manafwa ategeezezza nti embeera ekyaali nzibu mu bibuga bingi […]
Eyafumita abantu ebiso asibiddwa emyaka 8
Omuvubuka eyafumita abakyala basatu ebiso mu bitundu bye Katanga asibiddwa emyaka munaana. Sadati Kiggundu yalumba Jacqueline Mbabazi, Aisha Nabukenya ne Evelyn Mirembe mu kiyungu gyebaali n’abafumita ebiso olwo n’ateekako kakokola tondeka nyuma. Ng’awa ensala ye , omulamuzi Lilian Buchana agambye nti omuvubuka ono bamuwadde emyaka […]
Okuwandiika abantu- Tusasulako omu
Okuwandiisa abantu abagala okufuna endagamuntu kugenda mu maaso, gavumenti egamba nti yakusasula omuntu omu kw’abo abawandiisa. Kino kigyidde mu kaseera ng’abawandiisa abantu ku byaalo ebitali bimu beemulugunya ku butasasulwa nga bangi tebafunanga ku musaala. Amyuka omwogezi w’akakiiko akalondesa, Benjamin Katana,agamba nti ku buli kyaalo basasula […]
Okubala abantu- wasigaddeyo ennaku 100
Ekitongole ekikola ku miwendo gy’ebintu kitandise okubala ennaku ezisigaddeyo okubala abantu mu ggwanga lyonna kutandike Olwaleero ekitongole kino kitongozezza ennaku 100 okutuuka ku mulimu guno. Mu nnaku zino, bagenda kwongera okubangula abantu ku nteekateeka eno abantu okugitegeera obulungi. Akulira ekiwayi ekikola ku mulimu guno […]
Katikkiro alabudde ababba ettaka lya Buganda
Katikiro wa Buganda Owek.Charles Peter Mayiga alabudde abantu abeesomye okugula ettaka oly’ebifo by’obuwangwa bya Buganda. Ono awadde ekyokulabirako eky’ettaka ly’eNaggalabi eriguliddwa abantu abenjawulo nga kw’otadde n’ery’amasiro ge wamala. Katikkiro agamba nti ekikwasa ennaku kwekuba nti abantu abefuula nti balina omutima gwa Buganda ogutafa beebetabye […]