Amawulire
Ebbeeyi y’amafuta erinnye
Ebbula ly’amafuta litandise okuluma era nga bangi baliwuliddemu Mu kadde kano amafuta (Petulooli)agabadde gagula 3550 kati ku 3800. Diesel ali ku 3150 Akulira bannayini b’amasundiro g’amafuta mu Uganda Rajeen Taylor agamba nti ebbula lino livudde misoso egiri e Mombasa Wabula newankubade ebbeeyi y’amafuta erabika nga […]
Museveni yeeyongedde obuwagizi
Obuwagizi bwa pulezidenti Museveni okuddamu okwesimbawo ku bwa pulezidenti bulabika nga bukula buli lunaku Bannakibiina kya NRM ababeera ebweru w’eggwanga bakwataganye okuwagira nti Museveni addemu okwesimbawo Bano batudde mu kibuga London era nebavaayo n’ekiwandiiko nga kiwagira Museveni Kino kissiddwaako omukono gw’abakulira Patrick Asiimwe nga bagamba […]
Tujja kukuba ku Nyama- Kaweesi
Poliisi mu Kampala erayidde okuttukiza enkola y’okukuba ku nyama b’ekwatira mu bubbi. Kiddiridde okuttibwa kw’abadde akulira poliisi ye Kajjansi Joseph Bigirwa. Akulira poliisi mu kampala n’emiriraano, Andrew Felix Kaweesi agamba nti bagenda kukozesa etteeka lya poliisi eribakkiriza okukuba amasasi ku nyama mu ngeri y’okwerwanako Ono […]
Omuliro gukutte emizigo
Ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde byebisanyeewo mu muliro ogukutte amayumba e Kawala Omuliro guno gusanyizzaawo emizigo mukaaga Abaziinya mooto batuuse mu kitundu kino kyokka nga tewabaddeewo kya maanyi kya kutaasa Tekitegerekese oba omuliro guno guvudde ku ki.
Ogw’omusawo gwongezeddwaayo
Okuwulira omusango oguvunaanibwa omusawo agambibwa okusiiga omwana obulwadde bwa mukenenya kwongezeddwaayo okutuuka nga 19 omwezi guno Olwaleero kkooti ewulirizza obujulizi okuva eri omupoliisi Richard Wekuyo ng’ono yeeyakulemberamu abayaza amaka g’omusawo ono Rose Mary Namubiru Ono agambye nti nga batuuse mu maka g’omukyala ono , basangayo […]
Tebakutiisatiisa- ababaka ku bisiyaga
Abamu ku babaka mu lukiiko olukulu olw’eggwanga basabye pulezidenti museveni obutatitiiira asse omukomo ku tteeka ly’ebisiyaga Kiddiridde akulira eggwanga lya merica Barrack Obama okulabula Uganda kukuyisa etteeka lino ly’agamba nti liyingirira embeera z’abantu Ababaka okuli Martin Muzaale ne Patrick Nsanja bagamba nti kuno kutiisatiisa era […]
Eyawambye enyonyi akwatiddwa
Omuvuzi w’enyonyi owokubiri abadde awambye enyonyi ya Kampuni ya Ethiopian Airlines kyadaaki akwatiddwa. Enyonyi eno ebadde eva mu kibuga Addis Ababa nga edda Rome,bwatyo sempala ono n’agiwamba era nagiwaliriza okukakana mu ggwanga lya Switzerland. Ono olutuuse mu kibuga Geneva asabiddewo obububudamu munda mu ggwanga lino […]
Aba Taxi babayiribya
Abagoba ba taxi mu Kampala balaze obutali bumativu olw’engeri kcca gyebagobaganyaamu okuvva mu bifo eby’enjawulo gyebabade bakolera Bino webigidde nga KCCA kyegye egobaganye emotoka ezibadde zikolera mu cooper complex nga kw’ogasse nabade badukidde e nsambya abagobeddwa amakya galeero nga bonna eyagala bedde mu paaka ya […]
Akakiiko ku by’obulambuzi bya Buganda
Katikiro Wa Buganda, Owek.Charles peter Mayiga atongozza akakiiko akapya akagenda okukuuma n’okulondoola ebifo by’obwakabaka bwa Buganda eby’obuwangwa. Amanya g’abatuula ku kakiiko kano gawerezeddwa dda eri Ssabasajja okubakakasa.
Abakulu ku poliisi ye Kajjansi bakwatiddwa
Abasirikale ba poliisi abamadaala ag’awaggulu ku poliisi ye Kajjansi 4 bakwatiddwa ,ku byekuusa ku kufa kw’omu ku munaabwe ayakubiddwa amasasi abazigu wiiki ewedde . Bano bavunaanibwa kubeera nabulagajavu ku kikwekweto kyebakola ,ekyavirako ababbi b’emmundu okutta eyali akulira poliisi eno Joseph Bigirwa . Abakwatiddwa kuliko adumira […]