Amawulire
Omujaasi asse omuntu, Abalala balabuddwa ku lyaanyi
Amaggye g’eggwanga gali ku muyiggo gwa musajja waago akubye omuntu wa bulijjo amasasi n’oluvanyuma n’amalamu omusubi Private Fred Keny asse omugoba wa piki atannategerekeka mannya ku kyaalo Ilihili e Katakwo Ayogerera ekibinja kya UPDF eky’okusatu, Jimmy Denis Olamala agamba nti obubbi bweyongedde mu nnaku zino […]
Okuwandiisa emmotoka kwongezeddwaayo
Okuddamu okuwandiisa emmtoka zonna kwongezeddwaayo okumala emyezi esatu Ekitongole ekiwooza ekya Uganda revenue authority kitegeezezza nti abalina emmotoka babongedde emyezi esatu okubeera nga bazzeemu okufuna empappula ku mmotoka zaabwe. Okwongezaayo kuno kuddiridde okwemulugunya okuva mu babaka ba palamenti nti abantu bang tebamanyi nti […]
Bad Black n’eyali muganzi we bategeraganye
Omulamuzi mu kkooti y’eby’obusuubuzi, Henry Odongo agaanye okukkiriza okutegeragana okutuukiddwaako mwana muwala Bad Black n’eyali Muganzi we David Green Halgh. Ababiri bakkiriziganyizza okujja emisango mu kkooti kyokka ng’omulamuzi agaanye ng’agamba nti omusango guno gwalimu ne Meddie Ssentongo kyokka nga babadde bamutadde ku mabbali GreenHalg ng’ayita […]
Obwakabaka bulaze embalirira ku masiro,bukungubagidde Mandela
Obwakabaka bwa Buganda bulaze ensasaya ey’ensimbi ez’amasiro. Mu kiseera kino ensimbi akawumbi kamu n’obukadde 190 bwebyakasondebwa. Ku buno obukadde 300 bumaze okusasanyizibwa mu kugula ebintu ebyeyambisibwa mu kuzimba buggwe. Wabula ngawa ensasanya eno Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga agambye nti waliwo cheque z’abukadde […]
Abasuubuzi mu katale ke wandegeya bazize olukiiko ne kcca
Abasuubuzi abagenda okukolera mu katale akagya ak’eWandegeya olunaku olwaleero tebalabiseeko mulukiiko olubade lutegekedwa ekitongole kya kcca. Okusinziira ku Amyuka omwogezi wa kcca Robert Karumba , luno olukiiko lubade lwakukiriziganya kungeri gy’ebagenda okutambuzaamu emirimo gyabwe , kko ne’nsimbi ez’okusasula. Wabula bano bakanze kulinda basuubuzi nga mpaawo […]
Obuganda bukungubagidde Mandela
Katikiro wa Buganda Charlse Peter mayiga yegasse kunsi yonna okulaga okunyorwa olw’okufa kwomuduvau eyasooka okufuga ku gwanga lya South Aafrica Nelson Mandera. Ono nga ayogerera mulukiiko lwa Buganda olukomekereza omwaka , owek mayiga agambye nti ono abakulembeze bonna mu Africa basaana bamuyigireko okulekalagana . Katikiro […]
Abatujju bazzeemu okwewerera Uganda
Abatujju bazzeemu buto okwewerera Uganda. Bano ku luno batunuulidde basundiro ga mafuta n’ebifo ebirimu abantu abangi nga bulijjo Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti bafunye amawulire agakakasa nti abatujju bano tebatudde. Nabakooba agamba nti basazeewo okwongera okunyweeza eby’okwerinda mu bifo eby’enjawulo naddala mu biseera […]
Ebya Paakayaadi bya mpuna
Ab’omu katale ka Paaka ebyaabwe ssi byakuggwa kati. Ng’amaloboozi ku butuufu bw’akatale kano gajja gavaayo, aba KCCA nabo benyini bakatankana Omukungu mu KCCA Ndyamuba Ndahendekire agamba nti bakyasisinkana bonna bakikwatakako n’oluvanyuma baveeyo bategeeze webayimiridde Akatale kano kazze kakwata omuliro era ng’aasuubuzi balumiriza nti waliwo abagaala […]
Mandela aziikibwa ssande ya wiiki ejja.
Banansi ba South Africa bakungaanidde mu kibuga Johannesburg ne Soweto okukungubagira eyaliko omukulembeze waabwe Nelson Mandela Mandela yafudde ng’aweza emyaka 95 oluvanyuma lw’okumala ebbanga ng’atawanyizibwa obulwadde bw’amawuggwe Abantu abatali bamu obwedda bayimba kko n’okuzinira mu maaso g’agaali amaka ga Mandela mu kibuga Soweto Ono agenda […]
Mandela Afudde
Ensi yonna ezukuukidde ku mawulire g’ennaku ag’okufa kw’eyali omukulembeze w’eggwanga lya South Africa omudugavu eyasooka Nelson Madiba Mandela. Ku myaka 95 kwafiiridde Mandela yakulembera eggwanga lya South Africa ekisanja kimu kyokka okuva mu 1994 okutuusa mu 1999. Ekyewunyisa ono yali yakamala emyaka 27 mu kkomera […]