Amawulire
Gavt eragiddwa okusasula obukadde 70 eri omuntu gwe batomerera enju ye
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu Kampala eragidde Government esasule obukadde bw’ensimbi za Uganda nsanvu eri abamaka e mmotoka ya government beyatomerera emizigo gyabwe mu mwaka gwa 2009. Ekiragiro kino kiwereddwa omulamuzi Musa Ssekaana oluvanyuma lwokuwulira omusango nakizuula nti ddala e mmotoka ya government eyali […]
Bannauganda balabuddwa okuba obulindaala ku bikolwa byábatujju
By Kevin Githuku, Bannayuganda basabibwa okubeera abakkakkamu n’okubeera obulindaala oluvannyuma lw’okulabula lwa Gavumenti ya Bungereza okulabula Uganda ku batujju abasuubirwa okulumba eggwanga lino. Munnabyabufuzi eyawummula era omukugu mu nkolagana y’ensi yonna; Ambasada Harold Acemah ayogedde ku kulabula kuno nga ‘okulabula okwa bulijjo’ okuva mu mawanga […]
Poliisi e Masaka ekutte abalala 3 ku byókutta Famile yábantu 5
Bya Getrude Mutyaba, Poliisi e Masaka eriko abantu abalala 3 bekutte ku ttemu eryakolebwa ku bantu bataano nga bonna banjo emu. Nga 24 June, Emmanuel Muteesasira, ne mukyalawe, Proscovia Ndagaano, ne Beatrice Nakalyango muwala wabwe nábazzukulu baabwe babiri okuli Shivan Nakasagga ne Robert Kayemba batemulwa […]
Kkooti eragidde Col. Bagyenda okuliyirira Omusuubuzi gwe baatulugunya
Bya Ruth Anderah, Kkooti enkulu mu Kampala eragidde eyali akulira ekitongole ekikesi ekya ISO, Col Kaka Bagyenda nábakuuma ddembe abalala 14 okusasula obukadde bwénsimbi za Uganda 175 eri omusuubuzi agambibwa okuba nti yatulugunyizibwa era násibwa kuzinga Lwamayuba ekisangibwa e Kalangala. Ono kigambibwa nti yasibwa okumala […]
Omusango gwÓmubaka Zaake gudamu okuwulirwa enkya ya leero
Bya Ruth Anderah, Kkooti ya Ssemateeka olwaleero egenda kutandika okuddamu okuwulira omusango gw’okugoba omubaka wa Munisipaali y’e Mityana Francis Zaake kubwa kamisona bwa palamenti. Zaake yawaaba mu kkooti ya Ssemateeka ng’ayagala esazeemu ekyokumuggya kubwa kamisona mu palamenti ku bigambibwa nti yavuma Sipiika Anita Among ku […]
Kaliisoliiso asabiddwa okudamu okwetegereza ekiragiro kye
Bya prossy Kisakye, Ekibiina omwegatira abakozi mu ggwanga ki National Organization for Trade Unions kikubye ebituli mu kusalawo kwa kaliisoliiso wa gavumenti bweyalagidde eyali akulira ekitongole ekitereka ekitavu kya bakozi ekya NSSF Richard Byarugaba nákulira ebyensimbi mu kitongole ekyo Stevens Mwanje okusesema obuwumbi bwensimbi za […]
Gavt eggumiza bannauganda ku bukuumi
Bya Daily monitor, Gavumenti eggumiza bannauganda nti ebyókwerinda biri gguluggulu, yadde nga gavumenti ya bungereza yalabudde Uganda nti waliwo ebikolwa eby’obutujju ebitegekebwa okukolebwa mu ggwanga lino naddala mu bifo ebirimu abantu abangi. Mu kiwandiiko kyabatadde ku mukutu gwabwe ogwa webusiti olunaku lweggulo, gavumenti ya Bungereza […]
Bannakyewa bakubiriziddwa okuyambako mu nkola y’okukulakulanya emiruka
Bya Kevin Githuku, Minisita wa Kampala, Minsa Kabanda asabye ebibiina by’obwannakyewa ebikolera mu Kampala n’ababikwatibwako ensonga okwettanira enkola ya Parish Development Model, okusobola okutuusa obuweereza obulungi eri abantu. Minisita okwogera bino yabadde mu musomo gw’ebibiina by’obwannakyewa e Nakawa mu Kampala. yasabye ebibiina by’obwannakyewa okufaayo ennyo […]
Enteekateeka zitandise okufuna Omulabirizi w’e Luwero
Bya Prossy Kisakye, Olukiiko lw’abalabirizi b’ekkanisa ya Uganda lutandise okufuna abegwanyiza abapya ekifo kyómulabirizi wobulabirizi bwé Luwero mu kulonda okusuubirwa okubaawo nga August 1st 2023. Kino kikakasiddwa omuwandiisi wé kkanisa ya Uganda, Rev. Canon William Ongeng, olukiiko lw’abalabirizi lwasazizzaamu okulondebwa kwa Rev. Canon Godfrey Kasana, […]
UNEB erabudde abaneewandiisa ekikereezi
Bya Damali Mukhaye, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya Uganda National Examinations Board kisabye abakulira amasomero okussa ekitiibwa mu nsalesale akomekereza okuwandiisa abayizi abagenda okukola ebigezo byakamalirizo eby’omwaka guno. Okusinziira ku mwogezi wa UNEB, Jennifer Kalule, olwaleero yensalesale owomutendera ogusooka ogw’okulwawo okwewandiisa. Kino Kiddiridde […]