Ebyobulamu
Ebola agenda mu gwa munaana
Obulwadde bwa Ebola mu bugwanjuba bw’eggwanga bujja kuba butuuliddwa ku nfeete mu mwezi gw’omunaana wegunaatukira Akulira omukago gw’amawanga amagatte ku bulwadde bwa Ebola Ismail Ahmed y’ategeezezza bw’ati. Ono azzeemu okukkiriza nga bwebasooka okugayaala ekyayongera obuzibu. Obulwadde buno bwakatta abantu abasoba mu mutwalo omulamba.
Omuceere tegugejja kasita ogufumba bulungi
Bannasayansi bazudde engeri omuceere gyeguyinza okutegekebwaamu omuntu n’agulya ate negutamugezza Bano bagamba nti omuceere guno bwegufumbibwa nga gulimu butto w’ebinazi omuntu n’agussa mu firiigi okumala essaawa mukaaga nga tannagulya guba guwedde ebiriisa ebigezza Abanonyereza bano okuva mu Srilanka bagamba nti omuceere omutegeke bweguti gukendeeza obulabe […]
Omusajja gwa Typhoid gutuuse e Maracha
Omusujja gwa Typhoid gwongedde okusasanira mu bitundu by’eggwanga ebirala. Abantu nga 311 bateberezebwa okubeera n’omusujja guno mu disitulikiti ye Maracha . Akulira okulambula eby’obulamu mu disitulikiti eno Rasul Jurua agamba omusujja gubakutte mu myezi 3 egiyise nga era batandise okwekenenya abatunzi b’emmere mu kutundu kino. […]
Olukungaana ku byobulamu
Abakulembeze b’ebyobulamu okwetoolola amawanga ga East Africa bakusisinkana mu Kampala okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ebyobulamu Bagenda essira kulissa ku bulwadde bwa mukenenya n’omusujja gw’ensiri Bano era bakuteesa ku nsonga za yinsuwa y’ebyobulamu, n’engeri y’okugissa mu nkola mu mawanga nga Uganda Minisita omubeezi akola ku guno […]
Mubangule abantu ku TB
Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku bulwadde bwa TB Kino kijjidde mu kaseera ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozi ku bulwadde buno ssabbiiti eno Omusawo mu ddwaliro lya Kisenyi Health center Daniel Ssebagala agamba nti abalwadde abasinga beebogeddeko nabo bamanyi kitono ku bulwadde buno Agamba […]
Abalina Typhoid beeyongedde
Omuwendo gw’abalwadde b’omusujja gwomubyenda ogwa Typhoid gweyongedde wano mu Kampala. Ab’ebyobulamu okuva ku ddwaliro lya Kisenyi Health center 4 bategezezza nga bwebaafunye abalwadde abasoba mu 400 nga bateberezebwa okubeera ne typhoid. Akulira eby’obulamu mu KCCA Dr. David Sserukka agamba kati abantu abasoba mu 2300 bebalina […]
Museveni alumbye ab’ebyobulamu
Pulezidenti Museveni alumbye minisitule y’ebyobulamu olw’okulemererwa okuweereza bannayuganda mu ngeri ematiza Pulezidenti okuboggola abadde aggulawo omusomo ku ngeri embalirira gy’etambuziddwaamu mu kitundu ekisooka eky’omwaka Ono agambye nti yadde ebiruubira ebiweza ebitundu 68 ku kikumi bituukiriziddwa, minisitule eno esobodde kugema naye n’etalwanyisa bulungi ndwadde ndala naddala […]
Sikaani ezzeemu okukola e Mulago
Ekyuuma kya sikaani e Mulago kyaddaaki kizzeemu okukola oluvanyuma lw’ebbanga nga tekikola Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti ekyuuma ekikadde kyekyaddabiriziddwa kyokka nga n’ekipya kyakussibwaamu akadde konna Omu ku bakola ku kyuuma kino Dr Sam Ochola ategeezezza nga buli kimu bwekitambula obulungi nga […]
Ab’amaggye bakuyambako ku Typhoid
Amaggye g’eggwanga aga UPDF gawaddeyo abasawo 50 okuyambako mu kulwanyisa obulwadde bwa Typhoid Aduumira amaggye g’eggwanga General Katumba Wamala agamba nti abasawo bano bakuyambako mu kukukola ku muwendo gw’abalwadde omunene gwebafuna Yye akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti obuzibu bwa Typhoid bukyaali bw […]
KCCA etendewaliddwa ku Typhoid
Omuwendo gw’abantu abagenda mu ddwaliro ly’omu Kisenyi n’obubonero bw’omusujja gw’omu byenda bongera kulinnya Abasoba mu 2000 mu kadde kano beebali mu kufuna obujjanjabi ekirese abasawo nga batendewaliddwa Akulira abakozi mu kibuga Jennifer Musisi agamba nti keekadde gavumenti ebazimbire amalwaliro amalala okukola ku bantu ng’ebibamba nga […]