Ebyobulamu
Senyiga ajja lumu mu myaka etaano
Kizuuliddwa nti abantu abakulu bafuna ssenyiga omulundi gumu mu buli myaka etaano. Bino byesigamiziddwa ku kunonyereza okukoleddwa mu ggwanga lya China Bannasayansi bano bagambye nti yadde abantu bawulira ng’abalina ssenyiga emirundi mingi, aba asobola okugenda omuntu nebwa’atamira ddagala Bano batunuulidde abantu 151 abali wakati w’emyaka […]
Typhoid- amazzi g’obwereere gazze
Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’aba mazzi yakussaawo amazzi g’obwereere eri bannakibuga bonna Taapu ezisoba mu 40 zeezigenda okussibwaawo ng’ate teziggalwa kale ng’abantu bakusena amazzi nga bwebagaala Kamisona akola ku by’okulondoola endwadde ebigwaawo Dr.Monica Musenero agambye nti kino bakikoze nga bali wamu n’aba mazzi okuyamba abantu […]
Abe Mulago bassizzaamu ebyuma
Ab’eddwaliro lye Mulago batandise okussa ebyuma by’omulembe mu ddwaliro Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago Enoch Kusaasira agambye nti bafunye ekyuuma kya sikaani ekibadde kibafuukidde ensonga nga kati kikola n’ebyuma ebirala. Ensimbi ezikozeseddwa okugula ebyuuma zeezimu ku bukadde 40 eza doola ezeewolebwa okuddabiriza eddwaliro lino. Kusaasira agambye […]
Gavumenti malirivu okusindika abasawo ebweru
Gavumenti ezzeemu okukkatiriza nga bw’eri ennetegefu okusindika abasawo mu mawanga g’ebweru. Omuwandiisi ow’enkalakalira mu minisitule akola ku nsonga z’ebweru w’eggwanga ambasada James Mugume agambye nti balinze Lukiiko lwa ba minisita okukkiriza abasawo ba Uganda okugenda emitala wa mayanja. Mugume agambye nti abasawo abasoba mu 750 […]
Envunza zituuse e Masaka
Envunza zivudde e Busoga nga kati ziri Masaka. Envunza zino zirumbye bantu ku kyaalo Kasubi Kimaanya kyabakuza Abantu okuva mu maka 65 beebamaze okukosebwa ng’abasinga baana na bakadde Ssentebe w’ekyaalo kino Anselm Ssengendo agambye nti tebalina ngeri gyebayambamu bantu okuleka okubakunga okukuuma obuyonjo. Omu ku […]
Enzizi eziri mu kibuga ziggaddwa
Gavumenti yakuggala ebifo byonna ebivaamu amazzi mu kibuga kubanga kizuuliddwa nti byebitambuza kazambi Ebifo ebimu ku byogerwaako kwekuli oluzzi oluli mu paaka enkadde Minisita akola ku byobulamu ebisookerwaako Sarah Opendi agamba nti bamaze okukwatagana n’ab’amazzi okulaba nti bassaawo amazzi amayonjo Opendi agamba nti abantu bangi […]
Okusomesa ku Typhoid kugenda mu maaso
Abakulembeze b’abagoba ba Taxi mu ggwanga beegasse ku KCCA ne minisitule y’ebyobulamu okutandika okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu omusujja gw’omu byenda guyite Typhoid Kino kizze wakati mu bigambibwa nti bangi ku bafuna obulwadde buno bagenda mu basawo b’ekinnansi okufuna obujjanjabi mu kifo ky’okugenda mu malwaliro […]
Omulwadde afiiridde ku ddwaliro
Entiisa ebuutikidde abatuuze be Kasese oluvanyuma lw’omulwadde ow’emyaka 60 okutondoka n’afiira ku lubalaza lw’eddwaliro oluvanyuma lw’okusanga nga liggale emisana ttuku. Ab’enganda z’omugenzi bazze bamusitulidde ku katanda k’abalwadde okuva mu kyaalo kye Buhathiro mu nsozi ze Ihandiro wabula nebasanga nga eddwaliro ligaddwa ku ssaawa 9 ez’emisana. […]
E Mulago teri byuuma bya muliro
Eddwaliro lye Mulago litubidde n’abalwadde b’emiriro olw’ebbula ly’ebyuuma ebijanjaba abayidde Abalwadde okuva mu ward 3B bagamba nti bamaze enaku 2 nga tebefuna bujjanjabi, olw’ebbula ly’ebyuuma ebirina okukozesebwa mu kubajanjba. Wabula atwala ekiwayi ekikola ku muliro Dr Robert Ssentongo, bino byonna abisambazze. Ekigambibwa okuba ng’eddwaliro lye […]
Kabuyonjo za KCCA ezimu ziggaddwa
Bannakampala batandise okwekuniza ng’amafumbe olw’obutabaawo kabuyonjo Kino kiddiridde KCCA okuggala kabuyonjo zaayo ezimu okusobola okuziddabiriza Kabuyonjo eziggaddwa kuliko eri ku kibangirizi kya ssemateeka ne ku kkanisa ya KPC. Amyuka omwogezi wa KCCA Robert Kalumba wabula asabye abantu okusigala nga bakkakkamu okutuuka nga bamaze okulongoosa Kabuyonjo […]