Olwali
Abayindi bapepese emitwe
Abayindi abasoba mu 200 babawalakase emitwe nga bakungubagira enkima efudde Enkima eno yagudde mu kinnya n’efa bweyabadde egobwa embwa Abayindi abahindu nno balina endowooza nti enkima evaako ebisiraani ebitagambika ssinga eva nebatagikolera mikolo okuli n’okusalako enviiri
Omwenge gubizadde eddubu
Abantu abagaala omwenge gyebali nga gubasingira emmere Mu kibuga Valencia ekya Spain, omusajja elumbiddwa enyonta y’akenge, asazeewo okusiba eddubu lye ku kitaala ky’okukkuba olwo neyesogga bbaala Eddubu lino ly’abadde atambula nalyo lirabiddwaako nga likooye era ekivuddemu neyebaka Nga wayise akabanga, zireese waddanga ono atandikiddewo okwekalakaasa […]
Afuuse dole ku bukadde 135
Omukyala akola obwa modo akozesezza pawunda emitwalo esatu okukyuusa endabikaye okufanaana nga dole yenyini enkulu Victoria Wild, akyusiddwa omubiri gwe wgonna ng’apise amabeere, obukowekoowe, n’emimwa n’alabikira ddala nga dole Ono tebakomye awo bamutaddeko n’akabina Omulimu gwonna gumazeewo obukadde 135
Abagaala okuva ku buseegu-wuuno
Abantu bangi abanyumirwa okulaba obuseegu nga bwebatakikola bajula okufa Kati mu Kibuga Newyork waliwo omukyala atandise kkampuni eyamba abantu b’ekika kino okuva ku buseegu. Ekyewunyisa nti omukyala ono Sarah white akweyambulira n’omutunuulira nga bweyakola obusolosolo Omukyala ono nga mubalagavu muzibu era ayamba n’abalina ebizibu mu […]
Eyekubizza ebifananyi n’omulambo talina mulimu
Kati buli Muntu alina okuwa omulimu gwe ekitiibwa anti gwegumuyimirizaawo. Mu ggwanga lya Spain omusimuzi w’abafu ayimiriziddwa ku mulimu lwakutyobola ddembe ly’abafu oluvanyuma lw’okusimulayo omulambo neyekubya nagwo ekifaananyi ebifaananyi. Omusajja ono ategerekeseko erya Clemente,olwamaze okusimulayo omugenzi ebifaananyi nebiruma . Yabadde aweereddewa omulimu gw’okugaziya ku ntaana […]
Abadde yeekola obusolo afudde
Omusawo abadde agezesa enkola y’okwetuusa ku ntikko mu mukwano afiiridde mu kikolwa Zheng Gang alumbiddwa ekirwadde ky’omutima era ng’asangiddwa wansi ng’afudde ku ttendekero lya Wuhan University mu China Ono abadde yeggalidde mu kayumba balabye tavaayo kwekukamenya era mulambo gwebaguddeko
Omusajja ali lubuto
Ebyewunyisa tebiggwa mu nsi Mu ggwanga lya America omusajja eyasanyuka ennyo nga mukyala we afunye olubuto bitandise okumuggwaako Harry Asby etandise okufuna obubonero bwonna omukyala bw’afuna ng’ali lubuto okuli n’okusesema Omusajja ono ayoyeza ddala ng’ali olubuto nga kati atandise n’okumera amabeere Omusajja ono yye agamba […]
Okuganza mukozi munne- bangi tebawangaala
Abantu bangi boogera bubi eky’okwagala abantu bebakola nabo naye nga bangi bakikola Kigambibwa okuba nti ku buli bantu 20 b’osanga, 1 aba yaganza omuntu gw’akola naye Kigambibwa okuba nti abantu bangi batuuka n’okuviiramu webatalaga nga byonna babikola okubuzabuuza abalala ku mirimu gyebakolera. Wabula okunonyereza kuno […]
KKapa esala weyiti
Emu ku kkapa eyakasinga obunene mu nsi yonna etandise okusala amasavu Kkapa eno etandise na kudduka misinde. KKapa eno emanyiddwa nga King Leo esangibwa mu kibuga Tennesse Ya myaka 10
Amukyaaye lwakusaba kaboozi
Omusajja abadde akooye mukyala we ayagala akaboozi okukira emmere asazeewo bawukane Omusajja ono ensonga azitutte mu kkooti ng’agamba nti akooye okumukulusanya era ne kkooti n’ewuliriza okusaba kwe Abafumbo bano bagattibwa mu mwaka gwa 2012