Ebyemizannyo
Aba Mauritania bakulamula ogwa cranes
Bya Ali Mivule
Ekibiina ekifuga omupiira ku ssemazinga wa Africa kilonze badiifiri okuva mu ggwanga lya Mauritania okulamula omupiira wakati wa Uganda Cranes ne Cape verde.
Lemghaifry Bouchaab y’agenda okugubeera mu mitambo nga era wakuyambibwako Aderahmane Warr ne Hamedine Diba nga abawuubi b’obutambaala.
Ye Match Commissioner ava mu ggwanga lya Gambia.
Uganda yakuzanya Cape verd mu z’okusunsulamu abanazanya eza Africa mu kibuga kya Praia City e cape verde nga 10th June 2017.