Ebyemizannyo
CHAN etabuse
Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF kyakunyonyola Tiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes amateeka g’ekikopo kya CHAN mwebetabye wali e Rwanda.
Eyakuliddemu ekibinja kya Uganda Hamid Juma agamba bakumanya enteekateeka z’okutendekebwa ssaako n’okutangazibwa ku mateeka amalala.
Mungeri yeemu omutendesi wa Cranes Micho Sredojevic agamba tiimu yawumudde bulungi nga betegekera omupiira gwenkya.
Uganda eggulawo ne Mali mu kibinja D oluvanyuma ezeeko Zambia ne Zimbabwe.