Ebyemizannyo
Cranes eraze eryanyi
Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira eya Uganda Cranes yayongedde okulaga amaanyi mu mipiira gy’ebitundu by’eggwanga ebyenjawulo bwebaakubye ttiimu ya Kitara 3-1.
Omupiira guno gwanyumidde abalabi ku kisaawe kya Buhinga wali mu tawuni ya Fortportal.
Emmanuel Okwio yateebye ggoolo 2 olwo Nelson Senkatuka n’ateeba eyokusatu nga era gwagenze okuwummula nga cranes ebala 3-0.
Beckam Musoki yeyateebedde aba Kitara oluvanyuma lw’okuyingizibwamu mu kitundu ky’omuzanyo ekyokubiri nga era yateebye penati.