Ebyemizannyo
Empaka za puulu zigyiddwaako
Empaka z’omuzanyo gwa Golf eza Tasker Malt Uganda Open zigyiddwaako akawuuwo olunaku lwa leero wano mu Kampala.
Empaka ezitegekeddwa ku Uganda Golf Club era zeetabiddwaamu abazanyi abawerera ddala ebikumi bisatu nga zitandise na kwegezaamu eri abazanyira ensimbi wamu n’abayiga.
Olunaku lwenkya,lweziddamu ng’abazanyi okuva mu mawanga okuli Kenya,Tanzania,Rwanda,Zambia, South Africa n’abalala okulaba anawangula empaka ez’omulundi ogwe 72nd .
Okuyingira kwa bwereere eri bannabyamizannyo bonna.